పవిత్ర ఖురాన్ యొక్క భావార్థాల అనువాదం - లుగాండా అనువాదం - అల్ ఆఫ్రికియ్యహ్ లిల్ తన్మియ్యహ్ సంస్థ

Kaaf

external-link copy
1 : 50

قٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ٱلۡمَجِيدِ

1. Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 50

بَلۡ عَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٞ مِّنۡهُمۡ فَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا شَيۡءٌ عَجِيبٌ

2. Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 50

أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗاۖ ذَٰلِكَ رَجۡعُۢ بَعِيدٞ

3. (Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 50

قَدۡ عَلِمۡنَا مَا تَنقُصُ ٱلۡأَرۡضُ مِنۡهُمۡۖ وَعِندَنَا كِتَٰبٌ حَفِيظُۢ

4. (Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 50

بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَهُمۡ فِيٓ أَمۡرٖ مَّرِيجٍ

5. Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 50

أَفَلَمۡ يَنظُرُوٓاْ إِلَى ٱلسَّمَآءِ فَوۡقَهُمۡ كَيۡفَ بَنَيۡنَٰهَا وَزَيَّنَّٰهَا وَمَا لَهَا مِن فُرُوجٖ

6. Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 50

وَٱلۡأَرۡضَ مَدَدۡنَٰهَا وَأَلۡقَيۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ

7. Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 50

تَبۡصِرَةٗ وَذِكۡرَىٰ لِكُلِّ عَبۡدٖ مُّنِيبٖ

8. Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 50

وَنَزَّلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ مُّبَٰرَكٗا فَأَنۢبَتۡنَا بِهِۦ جَنَّٰتٖ وَحَبَّ ٱلۡحَصِيدِ

9. Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 50

وَٱلنَّخۡلَ بَاسِقَٰتٖ لَّهَا طَلۡعٞ نَّضِيدٞ

10. N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 50

رِّزۡقٗا لِّلۡعِبَادِۖ وَأَحۡيَيۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗاۚ كَذَٰلِكَ ٱلۡخُرُوجُ

11. Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 50

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَأَصۡحَٰبُ ٱلرَّسِّ وَثَمُودُ

12. Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 50

وَعَادٞ وَفِرۡعَوۡنُ وَإِخۡوَٰنُ لُوطٖ

13. Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 50

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ وَقَوۡمُ تُبَّعٖۚ كُلّٞ كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ وَعِيدِ

14. N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 50

أَفَعَيِينَا بِٱلۡخَلۡقِ ٱلۡأَوَّلِۚ بَلۡ هُمۡ فِي لَبۡسٖ مِّنۡ خَلۡقٖ جَدِيدٖ

15. Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya. info
التفاسير: