పవిత్ర ఖురాన్ యొక్క భావార్థాల అనువాదం - లుగాండా అనువాదం - అల్ ఆఫ్రికియ్యహ్ లిల్ తన్మియ్యహ్ సంస్థ

పేజీ నెంబరు:close

external-link copy
30 : 41

إِنَّ ٱلَّذِينَ قَالُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُ ثُمَّ ٱسۡتَقَٰمُواْ تَتَنَزَّلُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ أَلَّا تَخَافُواْ وَلَا تَحۡزَنُواْ وَأَبۡشِرُواْ بِٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ

30. Mazima abo abagamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi waffe oluvanyuma ne babeera beesimbu, ba Malayika bakka (nga bajja) gyebali (nga babagamba nti) temutya era temweraliikirira era musanyuke olw’ejjana eyo gye mwalinga mulagaanyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 41

نَحۡنُ أَوۡلِيَآؤُكُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَكُمۡ فِيهَا مَا تَشۡتَهِيٓ أَنفُسُكُمۡ وَلَكُمۡ فِيهَا مَا تَدَّعُونَ

31. Ffe (Ba Malayika) ffe banna mmwe mu bulamu obwensi ne mu bulamu obw'enkomerero, era mulina okufuna nga muli mu yo, ebyo emyooyo gya mmwe bye gyagala era nga bwe mulina okufuna ebyo bye musaba. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 41

نُزُلٗا مِّنۡ غَفُورٖ رَّحِيمٖ

32. (Ebyo) nga bugenyi obuva ewa (Katonda) omusonyiyi ennyo omusaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 41

وَمَنۡ أَحۡسَنُ قَوۡلٗا مِّمَّن دَعَآ إِلَى ٱللَّهِ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا وَقَالَ إِنَّنِي مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ

33. Ani ow'ebigambo ebirungi okusinga oyo akowoola (abantu) okudda eri Katonda era naakola emirimu emirongoofu era naagamba nti mazima nze ndi mu beewa ewa Katonda?. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 41

وَلَا تَسۡتَوِي ٱلۡحَسَنَةُ وَلَا ٱلسَّيِّئَةُۚ ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ فَإِذَا ٱلَّذِي بَيۡنَكَ وَبَيۡنَهُۥ عَدَٰوَةٞ كَأَنَّهُۥ وَلِيٌّ حَمِيمٞ

34. Era ekirungi n'ekibi tebyenkana, ggyawo (ekibi) ng’okozesa ekyo ekisinga obulungi, onogenda okulaba nga oyo awabadde wakatiiwo naye obulabe nga ddala yye ye womukwano ffa nfe. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 41

وَمَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَمَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ذُو حَظٍّ عَظِيمٖ

35. Era (ekyo) tebayinza ku kiweebwa okugyako abo abagumikiriza era tayinza kukiweebwa okugyako ow'omukisa ogwamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 41

وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ نَزۡغٞ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

36. Wabula singa wabaawo ekikulabankanya nga kiva mu Sitane, oteekwa okusaba obukuumi ewa Katonda, mazima yye yaawulira ennyo, omumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 41

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلَّيۡلُ وَٱلنَّهَارُ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُۚ لَا تَسۡجُدُواْ لِلشَّمۡسِ وَلَا لِلۡقَمَرِ وَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ ٱلَّذِي خَلَقَهُنَّ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ

37. Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 41

فَإِنِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فَٱلَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ يُسَبِّحُونَ لَهُۥ بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَهُمۡ لَا يَسۡـَٔمُونَ۩

38. (Naye bwe baneekuza (ssi kikulu) anti abo abali ewa Mukama omulabirizi wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa. info
التفاسير: