அல்குர்ஆன் மொழிபெயர்ப்பு - உகாண்டா மொழிபெயர்ப்பு - ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளை

Zumar

external-link copy
1 : 39

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ

1. Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 39

إِنَّآ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ فَٱعۡبُدِ ٱللَّهَ مُخۡلِصٗا لَّهُ ٱلدِّينَ

2. Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu. Kale sinza Katonda nga eddiini yonna ogikola ku lulwe yekka. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 39

أَلَا لِلَّهِ ٱلدِّينُ ٱلۡخَالِصُۚ وَٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ مَا نَعۡبُدُهُمۡ إِلَّا لِيُقَرِّبُونَآ إِلَى ٱللَّهِ زُلۡفَىٰٓ إِنَّ ٱللَّهَ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ فِي مَا هُمۡ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَنۡ هُوَ كَٰذِبٞ كَفَّارٞ

3. Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 39

لَّوۡ أَرَادَ ٱللَّهُ أَن يَتَّخِذَ وَلَدٗا لَّٱصۡطَفَىٰ مِمَّا يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ سُبۡحَٰنَهُۥۖ هُوَ ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ

4. Singa Katonda yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo kyayagadde mwebyo byatonda, naye wabula musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) yye ye Katonda ali omu nantalemwa. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 39

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۖ يُكَوِّرُ ٱلَّيۡلَ عَلَى ٱلنَّهَارِ وَيُكَوِّرُ ٱلنَّهَارَ عَلَى ٱلَّيۡلِۖ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمًّىۗ أَلَا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّٰرُ

5. Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bwabikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kyakutambula okumala ebbanga eggere, abange yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo. info
التفاسير: