د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ

د مخ نمبر:close

external-link copy
55 : 9

فَلَا تُعۡجِبۡكَ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُمۡۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُعَذِّبَهُم بِهَا فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَتَزۡهَقَ أَنفُسُهُمۡ وَهُمۡ كَٰفِرُونَ

55. Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 9

وَيَحۡلِفُونَ بِٱللَّهِ إِنَّهُمۡ لَمِنكُمۡ وَمَا هُم مِّنكُمۡ وَلَٰكِنَّهُمۡ قَوۡمٞ يَفۡرَقُونَ

56. Era balayira Katonda nti, mazima bo ba mu mmwe, naye ssi ba mu mmwe, mazima bo, bantu batiitiizi. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 9

لَوۡ يَجِدُونَ مَلۡجَـًٔا أَوۡ مَغَٰرَٰتٍ أَوۡ مُدَّخَلٗا لَّوَلَّوۡاْ إِلَيۡهِ وَهُمۡ يَجۡمَحُونَ

57. Singa bafuna obuddukiro, oba e mpuku, oba e kifo aweekukumwa, bandidduse okugenda gye kiri nga baduma. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 9

وَمِنۡهُم مَّن يَلۡمِزُكَ فِي ٱلصَّدَقَٰتِ فَإِنۡ أُعۡطُواْ مِنۡهَا رَضُواْ وَإِن لَّمۡ يُعۡطَوۡاْ مِنۡهَآ إِذَا هُمۡ يَسۡخَطُونَ

58. Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 9

وَلَوۡ أَنَّهُمۡ رَضُواْ مَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَقَالُواْ حَسۡبُنَا ٱللَّهُ سَيُؤۡتِينَا ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ وَرَسُولُهُۥٓ إِنَّآ إِلَى ٱللَّهِ رَٰغِبُونَ

59. Singa bamatira n'ekyo Katonda n’omubakawe kye baabawa, era ne bagamba nti Katonda waffe atumala, Katonda ajja kutuwa mu bigabwabye e bingi n’omubakawe bwatyo, anti mazima ddala ffe ewa Katonda gye tuyaayaanira okudda. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 9

۞ إِنَّمَا ٱلصَّدَقَٰتُ لِلۡفُقَرَآءِ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱلۡعَٰمِلِينَ عَلَيۡهَا وَٱلۡمُؤَلَّفَةِ قُلُوبُهُمۡ وَفِي ٱلرِّقَابِ وَٱلۡغَٰرِمِينَ وَفِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِۖ فَرِيضَةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ

60. Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 9

وَمِنۡهُمُ ٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ ٱلنَّبِيَّ وَيَقُولُونَ هُوَ أُذُنٞۚ قُلۡ أُذُنُ خَيۡرٖ لَّكُمۡ يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَيُؤۡمِنُ لِلۡمُؤۡمِنِينَ وَرَحۡمَةٞ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡۚ وَٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ رَسُولَ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

61. Era mu bo, mulimu abo abanyiiza Nabbi nga bagamba nti, yye awuliriza buli kimu, gamba nti awuliriza lwa bulungi bwa mmwe, akkiriza Katonda, era yeesiga abakkiriza, era yye kya kusaasira eri abo abakkiriza mu mmwe, bo abo abanyiiza omubaka wa Katonda, bagenda kutuukwako e bibonerezo e biruma. info
التفاسير: