د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ

Najmu

external-link copy
1 : 53

وَٱلنَّجۡمِ إِذَا هَوَىٰ

1. Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 53

مَا ضَلَّ صَاحِبُكُمۡ وَمَا غَوَىٰ

2. Munammwe (Muhammad) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 53

وَمَا يَنطِقُ عَنِ ٱلۡهَوَىٰٓ

3. Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 53

إِنۡ هُوَ إِلَّا وَحۡيٞ يُوحَىٰ

4. Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 53

عَلَّمَهُۥ شَدِيدُ ٱلۡقُوَىٰ

5. Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 53

ذُو مِرَّةٖ فَٱسۡتَوَىٰ

6. Nannyini busobozi eyeyoleka. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 53

وَهُوَ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡأَعۡلَىٰ

7. Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 53

ثُمَّ دَنَا فَتَدَلَّىٰ

8. Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 53

فَكَانَ قَابَ قَوۡسَيۡنِ أَوۡ أَدۡنَىٰ

9. Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 53

فَأَوۡحَىٰٓ إِلَىٰ عَبۡدِهِۦ مَآ أَوۡحَىٰ

10. Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 53

مَا كَذَبَ ٱلۡفُؤَادُ مَا رَأَىٰٓ

11. Emmeme (ya Nabbi Muhammad) teyalimba kwebyo bye yalaba. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 53

أَفَتُمَٰرُونَهُۥ عَلَىٰ مَا يَرَىٰ

12. Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 53

وَلَقَدۡ رَءَاهُ نَزۡلَةً أُخۡرَىٰ

13. Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 53

عِندَ سِدۡرَةِ ٱلۡمُنتَهَىٰ

14. Mu kifo awali awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 53

عِندَهَا جَنَّةُ ٱلۡمَأۡوَىٰٓ

15. Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 53

إِذۡ يَغۡشَى ٱلسِّدۡرَةَ مَا يَغۡشَىٰ

16. Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 53

مَا زَاغَ ٱلۡبَصَرُ وَمَا طَغَىٰ

17. Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba). info
التفاسير:

external-link copy
18 : 53

لَقَدۡ رَأَىٰ مِنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ

18. Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 53

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱللَّٰتَ وَٱلۡعُزَّىٰ

19. Abaffe mulaba Latta ne Uzza. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 53

وَمَنَوٰةَ ٱلثَّالِثَةَ ٱلۡأُخۡرَىٰٓ

20. Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa). info
التفاسير:

external-link copy
21 : 53

أَلَكُمُ ٱلذَّكَرُ وَلَهُ ٱلۡأُنثَىٰ

21. Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu). info
التفاسير:

external-link copy
22 : 53

تِلۡكَ إِذٗا قِسۡمَةٞ ضِيزَىٰٓ

22. Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 53

إِنۡ هِيَ إِلَّآ أَسۡمَآءٞ سَمَّيۡتُمُوهَآ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُم مَّآ أَنزَلَ ٱللَّهُ بِهَا مِن سُلۡطَٰنٍۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَمَا تَهۡوَى ٱلۡأَنفُسُۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مِّن رَّبِّهِمُ ٱلۡهُدَىٰٓ

23. (Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 53

أَمۡ لِلۡإِنسَٰنِ مَا تَمَنَّىٰ

24. Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa). info
التفاسير:

external-link copy
25 : 53

فَلِلَّهِ ٱلۡأٓخِرَةُ وَٱلۡأُولَىٰ

25. Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo). info
التفاسير:

external-link copy
26 : 53

۞ وَكَم مِّن مَّلَكٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ لَا تُغۡنِي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـًٔا إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ أَن يَأۡذَنَ ٱللَّهُ لِمَن يَشَآءُ وَيَرۡضَىٰٓ

26. Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima. info
التفاسير: