د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ

د مخ نمبر:close

external-link copy
51 : 28

۞ وَلَقَدۡ وَصَّلۡنَا لَهُمُ ٱلۡقَوۡلَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

51 . Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 28

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِهِۦ هُم بِهِۦ يُؤۡمِنُونَ

52 . Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani). info
التفاسير:

external-link copy
53 : 28

وَإِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦٓ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّنَآ إِنَّا كُنَّا مِن قَبۡلِهِۦ مُسۡلِمِينَ

53 . Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 28

أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡتَوۡنَ أَجۡرَهُم مَّرَّتَيۡنِ بِمَا صَبَرُواْ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ

54 . Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 28

وَإِذَا سَمِعُواْ ٱللَّغۡوَ أَعۡرَضُواْ عَنۡهُ وَقَالُواْ لَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ لَا نَبۡتَغِي ٱلۡجَٰهِلِينَ

55 . Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 28

إِنَّكَ لَا تَهۡدِي مَنۡ أَحۡبَبۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

56 . Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 28

وَقَالُوٓاْ إِن نَّتَّبِعِ ٱلۡهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفۡ مِنۡ أَرۡضِنَآۚ أَوَلَمۡ نُمَكِّن لَّهُمۡ حَرَمًا ءَامِنٗا يُجۡبَىٰٓ إِلَيۡهِ ثَمَرَٰتُ كُلِّ شَيۡءٖ رِّزۡقٗا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

57 . Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 28

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةِۭ بَطِرَتۡ مَعِيشَتَهَاۖ فَتِلۡكَ مَسَٰكِنُهُمۡ لَمۡ تُسۡكَن مِّنۢ بَعۡدِهِمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ وَكُنَّا نَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثِينَ

58 . Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 28

وَمَا كَانَ رَبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ حَتَّىٰ يَبۡعَثَ فِيٓ أُمِّهَا رَسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۚ وَمَا كُنَّا مُهۡلِكِي ٱلۡقُرَىٰٓ إِلَّا وَأَهۡلُهَا ظَٰلِمُونَ

59 . Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi. info
التفاسير: