ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

external-link copy
94 : 9

يَعۡتَذِرُونَ إِلَيۡكُمۡ إِذَا رَجَعۡتُمۡ إِلَيۡهِمۡۚ قُل لَّا تَعۡتَذِرُواْ لَن نُّؤۡمِنَ لَكُمۡ قَدۡ نَبَّأَنَا ٱللَّهُ مِنۡ أَخۡبَارِكُمۡۚ وَسَيَرَى ٱللَّهُ عَمَلَكُمۡ وَرَسُولُهُۥ ثُمَّ تُرَدُّونَ إِلَىٰ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

94. (Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi). info
التفاسير: