ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

AL-Mur salaat

external-link copy
1 : 77

وَٱلۡمُرۡسَلَٰتِ عُرۡفٗا

1. Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 77

فَٱلۡعَٰصِفَٰتِ عَصۡفٗا

2. Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 77

وَٱلنَّٰشِرَٰتِ نَشۡرٗا

3. Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 77

فَٱلۡفَٰرِقَٰتِ فَرۡقٗا

4. Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 77

فَٱلۡمُلۡقِيَٰتِ ذِكۡرًا

5. Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 77

عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا

6. Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 77

إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَٰقِعٞ

7. Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 77

فَإِذَا ٱلنُّجُومُ طُمِسَتۡ

8. Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 77

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ فُرِجَتۡ

9. Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango). info
التفاسير:

external-link copy
10 : 77

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ

10. Era ensozi bwezirimerengulwa. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 77

وَإِذَا ٱلرُّسُلُ أُقِّتَتۡ

11. Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 77

لِأَيِّ يَوۡمٍ أُجِّلَتۡ

12. (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi!. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 77

لِيَوۡمِ ٱلۡفَصۡلِ

13. Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 77

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ

14. Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

15. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 77

أَلَمۡ نُهۡلِكِ ٱلۡأَوَّلِينَ

16. Abaffe tetwazikiriza ababasokawo. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 77

ثُمَّ نُتۡبِعُهُمُ ٱلۡأٓخِرِينَ

17. Netubagoberezaako abalala. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 77

كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

18. Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

19. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa. info
التفاسير: