ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

Al-Ma'arij

external-link copy
1 : 70

سَأَلَ سَآئِلُۢ بِعَذَابٖ وَاقِعٖ

1. "Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 70

لِّلۡكَٰفِرِينَ لَيۡسَ لَهُۥ دَافِعٞ

2. Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 70

مِّنَ ٱللَّهِ ذِي ٱلۡمَعَارِجِ

3. Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 70

تَعۡرُجُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥ خَمۡسِينَ أَلۡفَ سَنَةٖ

4. Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 70

فَٱصۡبِرۡ صَبۡرٗا جَمِيلًا

5. Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 70

إِنَّهُمۡ يَرَوۡنَهُۥ بَعِيدٗا

6. Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 70

وَنَرَىٰهُ قَرِيبٗا

7. Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 70

يَوۡمَ تَكُونُ ٱلسَّمَآءُ كَٱلۡمُهۡلِ

8. Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 70

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ

9. Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 70

وَلَا يَسۡـَٔلُ حَمِيمٌ حَمِيمٗا

10. Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we. info
التفاسير: