ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
196 : 7

إِنَّ وَلِـِّۧيَ ٱللَّهُ ٱلَّذِي نَزَّلَ ٱلۡكِتَٰبَۖ وَهُوَ يَتَوَلَّى ٱلصَّٰلِحِينَ

196. Mazima omukuumi wange ye Katonda, oyo eyassa e kitabo, era bulijjo yye, ye mukuumi w’abalongoofu. info
التفاسير:

external-link copy
197 : 7

وَٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَكُمۡ وَلَآ أَنفُسَهُمۡ يَنصُرُونَ

197. Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa. info
التفاسير:

external-link copy
198 : 7

وَإِن تَدۡعُوهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ لَا يَسۡمَعُواْۖ وَتَرَىٰهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ وَهُمۡ لَا يُبۡصِرُونَ

198. Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba. info
التفاسير:

external-link copy
199 : 7

خُذِ ٱلۡعَفۡوَ وَأۡمُرۡ بِٱلۡعُرۡفِ وَأَعۡرِضۡ عَنِ ٱلۡجَٰهِلِينَ

199. Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera. info
التفاسير:

external-link copy
200 : 7

وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ نَزۡغٞ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٌ عَلِيمٌ

200. Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
201 : 7

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ إِذَا مَسَّهُمۡ طَٰٓئِفٞ مِّنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ تَذَكَّرُواْ فَإِذَا هُم مُّبۡصِرُونَ

201. Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu. info
التفاسير:

external-link copy
202 : 7

وَإِخۡوَٰنُهُمۡ يَمُدُّونَهُمۡ فِي ٱلۡغَيِّ ثُمَّ لَا يُقۡصِرُونَ

202. Naye nga bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera. info
التفاسير:

external-link copy
203 : 7

وَإِذَا لَمۡ تَأۡتِهِم بِـَٔايَةٖ قَالُواْ لَوۡلَا ٱجۡتَبَيۡتَهَاۚ قُلۡ إِنَّمَآ أَتَّبِعُ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيَّ مِن رَّبِّيۚ هَٰذَا بَصَآئِرُ مِن رَّبِّكُمۡ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

203. Bwotabaleetera kya magero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza, gamba nti, mazima ngoberera ebyo ebiba bimpereddwa okuva ewa Mukama omulabirizi wange. (Kur’ani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, era bulungamu na kusaasira eri abo abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
204 : 7

وَإِذَا قُرِئَ ٱلۡقُرۡءَانُ فَٱسۡتَمِعُواْ لَهُۥ وَأَنصِتُواْ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ

204. Buli Kur’ani lwesomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe. info
التفاسير:

external-link copy
205 : 7

وَٱذۡكُر رَّبَّكَ فِي نَفۡسِكَ تَضَرُّعٗا وَخِيفَةٗ وَدُونَ ٱلۡجَهۡرِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ وَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡغَٰفِلِينَ

205. Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu. info
التفاسير:

external-link copy
206 : 7

إِنَّ ٱلَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَيُسَبِّحُونَهُۥ وَلَهُۥ يَسۡجُدُونَۤ۩

206. Mazima abo abali ewa Mukama omulabiriziwo, tebeekuluntaza nebatamusinza, era ba mutendereza, era nga yye yekka, gwebavunnamira. info
التفاسير: