ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
82 : 6

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَمۡ يَلۡبِسُوٓاْ إِيمَٰنَهُم بِظُلۡمٍ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلۡأَمۡنُ وَهُم مُّهۡتَدُونَ

82. (E kituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula kweyisa bubi (Shirik), mu bukkiriza bwabwe, abo nno be balina e mirembe era abo be baalungamizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 6

وَتِلۡكَ حُجَّتُنَآ ءَاتَيۡنَٰهَآ إِبۡرَٰهِيمَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦۚ نَرۡفَعُ دَرَجَٰتٖ مَّن نَّشَآءُۗ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ

83. Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 6

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۚ كُلًّا هَدَيۡنَاۚ وَنُوحًا هَدَيۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَمِن ذُرِّيَّتِهِۦ دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ وَأَيُّوبَ وَيُوسُفَ وَمُوسَىٰ وَهَٰرُونَۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

84. Era twamugabira (Ibrahim) Ishak ne Yakub, bombi twabalungamya nga n’okusooka twalungamya Nuhu, ne mu zadderye twalungamya Dauda ne Sulaiman ne Ayub ne Yusuf ne Musa ne Haruna, na bwekityo nno bwe tusasula abalongoofu. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 6

وَزَكَرِيَّا وَيَحۡيَىٰ وَعِيسَىٰ وَإِلۡيَاسَۖ كُلّٞ مِّنَ ٱلصَّٰلِحِينَ

85. Ne Zakariya ne Yahya ne Isa ne Eliasi, buli omu kwabo wa mu bakozi b’emirimu e mirungi. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 6

وَإِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَيُونُسَ وَلُوطٗاۚ وَكُلّٗا فَضَّلۡنَا عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ

86. Ne Ismail ne Iriyasa-a ne Yunus ne Luutu, buli omu ku bo twamusukkulumya ku bantu abalala. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 6

وَمِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَذُرِّيَّٰتِهِمۡ وَإِخۡوَٰنِهِمۡۖ وَٱجۡتَبَيۡنَٰهُمۡ وَهَدَيۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

87. Era (twalungamya abantu abalala) nga bava mu bakadde baabo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era netubafuula ab'enjawulo, era netubalungamya ku kubo e ggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 6

ذَٰلِكَ هُدَى ٱللَّهِ يَهۡدِي بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَلَوۡ أَشۡرَكُواْ لَحَبِطَ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

88. Okwo kwe kulungamya kwa Katonda, alungamya na kwo oyo gwaba ayagadde mu baddube, naye singa baagatta e kintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa e byo bye baali bakola. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 6

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَۚ فَإِن يَكۡفُرۡ بِهَا هَٰٓؤُلَآءِ فَقَدۡ وَكَّلۡنَا بِهَا قَوۡمٗا لَّيۡسُواْ بِهَا بِكَٰفِرِينَ

89. Abo beebo be twawa e kitabo n’obufuzi n’obwa Nabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya e bintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 6

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ هَدَى ٱللَّهُۖ فَبِهُدَىٰهُمُ ٱقۡتَدِهۡۗ قُل لَّآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ أَجۡرًاۖ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰلَمِينَ

90. Abo beebo Katonda be yalungamya, obulungamu bwabwe bwoteekwa okugoberera, ogambe nti, (kyenkola) si kibasabirako mpeera kyenkola, tekiri kyo (kintu kirala kyonna) okugyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna. info
التفاسير: