ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
12 : 47

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَتَمَتَّعُونَ وَيَأۡكُلُونَ كَمَا تَأۡكُلُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ وَٱلنَّارُ مَثۡوٗى لَّهُمۡ

12. Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 47

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ هِيَ أَشَدُّ قُوَّةٗ مِّن قَرۡيَتِكَ ٱلَّتِيٓ أَخۡرَجَتۡكَ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ فَلَا نَاصِرَ لَهُمۡ

13. Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 47

أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّهِۦ كَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم

14. Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ngooyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 47

مَّثَلُ ٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۖ فِيهَآ أَنۡهَٰرٞ مِّن مَّآءٍ غَيۡرِ ءَاسِنٖ وَأَنۡهَٰرٞ مِّن لَّبَنٖ لَّمۡ يَتَغَيَّرۡ طَعۡمُهُۥ وَأَنۡهَٰرٞ مِّنۡ خَمۡرٖ لَّذَّةٖ لِّلشَّٰرِبِينَ وَأَنۡهَٰرٞ مِّنۡ عَسَلٖ مُّصَفّٗىۖ وَلَهُمۡ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَمَغۡفِرَةٞ مِّن رَّبِّهِمۡۖ كَمَنۡ هُوَ خَٰلِدٞ فِي ٱلنَّارِ وَسُقُواْ مَآءً حَمِيمٗا فَقَطَّعَ أَمۡعَآءَهُمۡ

15. (Abaffe) e jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa (egenda kuba nga) erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka nemigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gya asaali omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 47

وَمِنۡهُم مَّن يَسۡتَمِعُ إِلَيۡكَ حَتَّىٰٓ إِذَا خَرَجُواْ مِنۡ عِندِكَ قَالُواْ لِلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مَاذَا قَالَ ءَانِفًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُمۡ

16. Era mu bo mulimu abakuwuliriza (era nebalaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 47

وَٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ زَادَهُمۡ هُدٗى وَءَاتَىٰهُمۡ تَقۡوَىٰهُمۡ

17. Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
18 : 47

فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗۖ فَقَدۡ جَآءَ أَشۡرَاطُهَاۚ فَأَنَّىٰ لَهُمۡ إِذَا جَآءَتۡهُمۡ ذِكۡرَىٰهُمۡ

18. Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira!. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 47

فَٱعۡلَمۡ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مُتَقَلَّبَكُمۡ وَمَثۡوَىٰكُمۡ

19. Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe. info
التفاسير: