ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
67 : 40

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ يُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡ ثُمَّ لِتَكُونُواْ شُيُوخٗاۚ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ مِن قَبۡلُۖ وَلِتَبۡلُغُوٓاْ أَجَلٗا مُّسَمّٗى وَلَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

67. (Anti) ye yooyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adam), oluvanyuma (abatonda nga) abajja mu mazzzi agazaala, oluvanyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvanyuma abafulumya nga muli baana, oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abakadde, ate mu mmwe mulimu afa ng'akyali (naatamalaayo emitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuuka ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa). info
التفاسير:

external-link copy
68 : 40

هُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فَإِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ

68. (Katonda) yye yooyo awa obulamu era yatta, kale nno bwaba asazeewo ekintu akigamba nti beera nekibeera. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 40

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ أَنَّىٰ يُصۡرَفُونَ

69. Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku bigambo bya Katonda engeri gye bakyusibwamu (nebaleka amazima). info
التفاسير:

external-link copy
70 : 40

ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِٱلۡكِتَٰبِ وَبِمَآ أَرۡسَلۡنَا بِهِۦ رُسُلَنَاۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

70. (Abo abaalimbisa ekitabo (Kur’ani) n'ebyo byetwatuma nabyo ababaka baffe kyaddaaki balimanya. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 40

إِذِ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَٰقِهِمۡ وَٱلسَّلَٰسِلُ يُسۡحَبُونَ

71. (Balimanya) mu kiseera enkoligo bwezirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa ne njegere nga bawalulwa. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 40

فِي ٱلۡحَمِيمِ ثُمَّ فِي ٱلنَّارِ يُسۡجَرُونَ

72. Mu lweje oluvanyuma balisibirwa mu muliro. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 40

ثُمَّ قِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تُشۡرِكُونَ

73. Oluvanyuma baligambwa nti biriwa bye mwagattanga (ku Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
74 : 40

مِن دُونِ ٱللَّهِۖ قَالُواْ ضَلُّواْ عَنَّا بَل لَّمۡ نَكُن نَّدۡعُواْ مِن قَبۡلُ شَيۡـٔٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ ٱلۡكَٰفِرِينَ

74. Nemuleka Katonda, baligamba nti batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga oluberyeberye temwali kantu. Bwatyo Katonda bwabuza abakafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
75 : 40

ذَٰلِكُم بِمَا كُنتُمۡ تَفۡرَحُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَبِمَا كُنتُمۡ تَمۡرَحُونَ

75. Ebyo nno mmwe (eby'omuliro gwe muyingidde) lwansonga lwebyo bye mwasanyuka nga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 40

ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ

76. Muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bwa beekuza. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 40

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۚ فَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعۡضَ ٱلَّذِي نَعِدُهُمۡ أَوۡ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ

77. Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kwebyo bye tubalaganyisa oba netukussaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa gyetuli. info
التفاسير: