ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
22 : 39

أَفَمَن شَرَحَ ٱللَّهُ صَدۡرَهُۥ لِلۡإِسۡلَٰمِ فَهُوَ عَلَىٰ نُورٖ مِّن رَّبِّهِۦۚ فَوَيۡلٞ لِّلۡقَٰسِيَةِ قُلُوبُهُم مِّن ذِكۡرِ ٱللَّهِۚ أُوْلَٰٓئِكَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ

22. Abaffe oyo Katonda gwayanjululiza obusiraamu ekifuba kye, olwo nno yye naaba nga ali ku kitangaala ekiva eri Mukama omulabirizi we (afaanana n'oyo alina omutima omukakanyavu!) okubonaabona kuli kwabo abakakanyavu b’emitima gyabwe egiva ku kutendereza Katonda, abo bali mu bubuze obw'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 39

ٱللَّهُ نَزَّلَ أَحۡسَنَ ٱلۡحَدِيثِ كِتَٰبٗا مُّتَشَٰبِهٗا مَّثَانِيَ تَقۡشَعِرُّ مِنۡهُ جُلُودُ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُمۡ ثُمَّ تَلِينُ جُلُودُهُمۡ وَقُلُوبُهُمۡ إِلَىٰ ذِكۡرِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ هُدَى ٱللَّهِ يَهۡدِي بِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٍ

23. Katonda yassa ebigambo ebisinga obulungi (Kur’ani) nga kitabo ekirina ebigambo ebifaanagana (naye nga tebikontana) nga kiddingana ensonga (awatali kukooyesa awulira) gyesisiwala ku lwakyo emibiri gyabo abatya Mukama omulabirizi waabwe (bwekyogera ebigambo ebyogera ku bibonerezo) oluvanyuma emibiri gyabwe n'emitima gyabwe gikkakkana bwe giba giwulidde ebigambo ebyogera ku Katonda (n'okusaasira kwe) ekyo (ekitabo Kur’ani) kulungamya kwa Katonda alungamya nakyo oyo gwaba ayagadde, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 39

أَفَمَن يَتَّقِي بِوَجۡهِهِۦ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَقِيلَ لِلظَّٰلِمِينَ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَكۡسِبُونَ

24. Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 39

كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ

25. Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno ebibonerezo nebibajjira okuva webaali tebasuubira. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 39

فَأَذَاقَهُمُ ٱللَّهُ ٱلۡخِزۡيَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

26. Olwo nno Katonda naabakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali singa baali bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 39

وَلَقَدۡ ضَرَبۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖ لَّعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

27. Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 39

قُرۡءَانًا عَرَبِيًّا غَيۡرَ ذِي عِوَجٖ لَّعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ

28. Kur’ani (twagissa) nga eri mu luwarabu nga teriimu bukyamu bwonna babe nga batya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 39

ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا رَّجُلٗا فِيهِ شُرَكَآءُ مُتَشَٰكِسُونَ وَرَجُلٗا سَلَمٗا لِّرَجُلٍ هَلۡ يَسۡتَوِيَانِ مَثَلًاۚ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

29. Katonda yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakamaabe bangi abakaayana (n'atamanya ani gwasooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana. Ebitendo byonna bya Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 39

إِنَّكَ مَيِّتٞ وَإِنَّهُم مَّيِّتُونَ

30. Mazima ggwe (Nabbi Muhammad) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 39

ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عِندَ رَبِّكُمۡ تَخۡتَصِمُونَ

31. Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozanganya ewa Mukama omulabirizi wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero. info
التفاسير: