ߞߎ߬ߙߣߊ߬ ߞߟߊߒߞߋ ߞߘߐ ߟߎ߬ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߟߎߜ߭ߊ߲ߘߊߞߊ߲ ߘߟߊߡߌߘߊ - ߝߘߊ߬ߝߌ߲߬ߠߊ߫ ߡߣߊ߬ߙߏ߲߬ߠߌ߲ ߜߙߋ߬ߡߊ߬ߕߍ߰ߘߊ ߓߟߏ߫

ߞߐߜߍ ߝߙߍߕߍ:close

external-link copy
71 : 15

قَالَ هَٰٓؤُلَآءِ بَنَاتِيٓ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ

71. Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 15

لَعَمۡرُكَ إِنَّهُمۡ لَفِي سَكۡرَتِهِمۡ يَعۡمَهُونَ

72. (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 15

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُشۡرِقِينَ

73. Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo. info
التفاسير:

external-link copy
74 : 15

فَجَعَلۡنَا عَٰلِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ حِجَارَةٗ مِّن سِجِّيلٍ

74. (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye. info
التفاسير:

external-link copy
75 : 15

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡمُتَوَسِّمِينَ

75. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 15

وَإِنَّهَا لَبِسَبِيلٖ مُّقِيمٍ

76. Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba). info
التفاسير:

external-link copy
77 : 15

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

77. Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 15

وَإِن كَانَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ لَظَٰلِمِينَ

78. Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 15

فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ وَإِنَّهُمَا لَبِإِمَامٖ مُّبِينٖ

79. Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo). info
التفاسير:

external-link copy
80 : 15

وَلَقَدۡ كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡحِجۡرِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

80. Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh). info
التفاسير:

external-link copy
81 : 15

وَءَاتَيۡنَٰهُمۡ ءَايَٰتِنَا فَكَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ

81. Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 15

وَكَانُواْ يَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتًا ءَامِنِينَ

82. Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 15

فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُصۡبِحِينَ

83. Okubwatuka nekubakwata nga bukya. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 15

فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

84. Ebyo bye baakolanga tebyabayamba. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 15

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَإِنَّ ٱلسَّاعَةَ لَأٓتِيَةٞۖ فَٱصۡفَحِ ٱلصَّفۡحَ ٱلۡجَمِيلَ

85. Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 15

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ ٱلۡخَلَّٰقُ ٱلۡعَلِيمُ

86. Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 15

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ سَبۡعٗا مِّنَ ٱلۡمَثَانِي وَٱلۡقُرۡءَانَ ٱلۡعَظِيمَ

87. Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna). info
التفاسير:

external-link copy
88 : 15

لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ

88. Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 15

وَقُلۡ إِنِّيٓ أَنَا ٱلنَّذِيرُ ٱلۡمُبِينُ

89. Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 15

كَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَى ٱلۡمُقۡتَسِمِينَ

90. Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda). info
التفاسير: