पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन ।

Al-Alak

external-link copy
1 : 96

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ

1. Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 96

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ

2. Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 96

ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ

3. Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 96

ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ

4. Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 96

عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ

5. Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 96

كَلَّآ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَيَطۡغَىٰٓ

6. Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 96

أَن رَّءَاهُ ٱسۡتَغۡنَىٰٓ

7. Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 96

إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلرُّجۡعَىٰٓ

8. Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 96

أَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي يَنۡهَىٰ

9. Olabye omuntu agaana. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 96

عَبۡدًا إِذَا صَلَّىٰٓ

10. (Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 96

أَرَءَيۡتَ إِن كَانَ عَلَى ٱلۡهُدَىٰٓ

11. Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu! info
التفاسير:

external-link copy
12 : 96

أَوۡ أَمَرَ بِٱلتَّقۡوَىٰٓ

12. Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 96

أَرَءَيۡتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰٓ

13. Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 96

أَلَمۡ يَعۡلَم بِأَنَّ ٱللَّهَ يَرَىٰ

14. Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 96

كَلَّا لَئِن لَّمۡ يَنتَهِ لَنَسۡفَعَۢا بِٱلنَّاصِيَةِ

15. Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 96

نَاصِيَةٖ كَٰذِبَةٍ خَاطِئَةٖ

16. Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 96

فَلۡيَدۡعُ نَادِيَهُۥ

17. Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase). info
التفاسير:

external-link copy
18 : 96

سَنَدۡعُ ٱلزَّبَانِيَةَ

18. Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu). info
التفاسير:

external-link copy
19 : 96

كَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب۩

19. Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali. info
التفاسير: