पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन ।

Swaffaat

external-link copy
1 : 37

وَٱلصَّٰٓفَّٰتِ صَفّٗا

1. Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 37

فَٱلزَّٰجِرَٰتِ زَجۡرٗا

2. Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba). info
التفاسير:

external-link copy
3 : 37

فَٱلتَّٰلِيَٰتِ ذِكۡرًا

3. N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 37

إِنَّ إِلَٰهَكُمۡ لَوَٰحِدٞ

4. Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 37

رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَرَبُّ ٱلۡمَشَٰرِقِ

5. Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 37

إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ

6. Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde). info
التفاسير:

external-link copy
7 : 37

وَحِفۡظٗا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ مَّارِدٖ

7. N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 37

لَّا يَسَّمَّعُونَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰ وَيُقۡذَفُونَ مِن كُلِّ جَانِبٖ

8. Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 37

دُحُورٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ وَاصِبٌ

9. Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 37

إِلَّا مَنۡ خَطِفَ ٱلۡخَطۡفَةَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ ثَاقِبٞ

10. Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 37

فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَهُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَم مَّنۡ خَلَقۡنَآۚ إِنَّا خَلَقۡنَٰهُم مِّن طِينٖ لَّازِبِۭ

11. Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 37

بَلۡ عَجِبۡتَ وَيَسۡخَرُونَ

12. Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 37

وَإِذَا ذُكِّرُواْ لَا يَذۡكُرُونَ

13. Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 37

وَإِذَا رَأَوۡاْ ءَايَةٗ يَسۡتَسۡخِرُونَ

14. Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 37

وَقَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٌ

15. Era nebagamba nti: kino tekiri okugyako eddogo eryeyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 37

أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

16. (Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa!. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 37

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ

17. Oba ba kitaffe abaakulembera. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 37

قُلۡ نَعَمۡ وَأَنتُمۡ دَٰخِرُونَ

18. Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 37

فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ فَإِذَا هُمۡ يَنظُرُونَ

19. Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 37

وَقَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا هَٰذَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

20. Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 37

هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

21. (Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 37

۞ ٱحۡشُرُواْ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ وَأَزۡوَٰجَهُمۡ وَمَا كَانُواْ يَعۡبُدُونَ

22. (Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 37

مِن دُونِ ٱللَّهِ فَٱهۡدُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡجَحِيمِ

23. Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 37

وَقِفُوهُمۡۖ إِنَّهُم مَّسۡـُٔولُونَ

24. Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa. info
التفاسير: