വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
32 : 9

يُرِيدُونَ أَن يُطۡفِـُٔواْ نُورَ ٱللَّهِ بِأَفۡوَٰهِهِمۡ وَيَأۡبَى ٱللَّهُ إِلَّآ أَن يُتِمَّ نُورَهُۥ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡكَٰفِرُونَ

32. Baagala okuzikiza e kitangaala ky’a Katonda, nga bakozesa e mimwa gyabwe, ne Katonda takkiriza okugyako okujjuza ekitangaalakye, newaakubadde nga abakafiiri tebayagala. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 9

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ رَسُولَهُۥ بِٱلۡهُدَىٰ وَدِينِ ٱلۡحَقِّ لِيُظۡهِرَهُۥ عَلَى ٱلدِّينِ كُلِّهِۦ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُشۡرِكُونَ

33. Katonda, yye yooyo eyatuma omubakawe nga amuwadde obulungamu n’eddiini ey’amazima, abe ng’a agiraga nga bweri waggulu we ddiini e ndala zonna newaakubadde nga abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakyagala. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 9

۞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡأَحۡبَارِ وَٱلرُّهۡبَانِ لَيَأۡكُلُونَ أَمۡوَٰلَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡبَٰطِلِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۗ وَٱلَّذِينَ يَكۡنِزُونَ ٱلذَّهَبَ وَٱلۡفِضَّةَ وَلَا يُنفِقُونَهَا فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٖ

34. Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 9

يَوۡمَ يُحۡمَىٰ عَلَيۡهَا فِي نَارِ جَهَنَّمَ فَتُكۡوَىٰ بِهَا جِبَاهُهُمۡ وَجُنُوبُهُمۡ وَظُهُورُهُمۡۖ هَٰذَا مَا كَنَزۡتُمۡ لِأَنفُسِكُمۡ فَذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَكۡنِزُونَ

35. Ku lunaku (e mmaali eyo) lwe liyengerezebwa mu muliro Jahannama, e byenyi byabwe nembiriizi zaabwe n’emigongo gyabwe nebyokebwa nayo, (nga bwe bakomekkerezebwa nti) bino bye mwetegekera, mukombe ku bukaawu bw'ebyo, bye mwaterekanga. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 9

إِنَّ عِدَّةَ ٱلشُّهُورِ عِندَ ٱللَّهِ ٱثۡنَا عَشَرَ شَهۡرٗا فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ يَوۡمَ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ مِنۡهَآ أَرۡبَعَةٌ حُرُمٞۚ ذَٰلِكَ ٱلدِّينُ ٱلۡقَيِّمُۚ فَلَا تَظۡلِمُواْ فِيهِنَّ أَنفُسَكُمۡۚ وَقَٰتِلُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ كَآفَّةٗ كَمَا يُقَٰتِلُونَكُمۡ كَآفَّةٗۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُتَّقِينَ

36. Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya. info
التفاسير: