വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

Al Hujuraat

external-link copy
1 : 49

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيِ ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ

1. Abange mmwe abakkiriza temwetumikirizanga mu maaso ga Katonda n’omubaka we (nemwogera ku kintu nga omubaka tannakyogerako) era mutye Katonda mazima Katonda muwulizi nnyo mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 49

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَرۡفَعُوٓاْ أَصۡوَٰتَكُمۡ فَوۡقَ صَوۡتِ ٱلنَّبِيِّ وَلَا تَجۡهَرُواْ لَهُۥ بِٱلۡقَوۡلِ كَجَهۡرِ بَعۡضِكُمۡ لِبَعۡضٍ أَن تَحۡبَطَ أَعۡمَٰلُكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تَشۡعُرُونَ

2. Abange mmwe abakkiriza temusitulanga amaloboozi ga mmwe okusinga ku ddoboozi lya Nabbi, era temumwatuliranga ebigambo nga abamu mu mmwe bwe batuulira bannabwe, emirimu gya mmwe gireme kwononeka nga temugenderedde. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 49

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَغُضُّونَ أَصۡوَٰتَهُمۡ عِندَ رَسُولِ ٱللَّهِ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱمۡتَحَنَ ٱللَّهُ قُلُوبَهُمۡ لِلتَّقۡوَىٰۚ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٌ عَظِيمٌ

3. Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gaabwe awali omubaka wa Katonda, abo beebo Katonda beyatukuza emitima gyabwe babe nga bamutya. Balina ekisonyiwo ne mpeera ensukkulumu. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 49

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُنَادُونَكَ مِن وَرَآءِ ٱلۡحُجُرَٰتِ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ

4. Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera. info
التفاسير: