വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
30 : 47

وَلَوۡ نَشَآءُ لَأَرَيۡنَٰكَهُمۡ فَلَعَرَفۡتَهُم بِسِيمَٰهُمۡۚ وَلَتَعۡرِفَنَّهُمۡ فِي لَحۡنِ ٱلۡقَوۡلِۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ أَعۡمَٰلَكُمۡ

30. Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 47

وَلَنَبۡلُوَنَّكُمۡ حَتَّىٰ نَعۡلَمَ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ مِنكُمۡ وَٱلصَّٰبِرِينَ وَنَبۡلُوَاْ أَخۡبَارَكُمۡ

31. Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 47

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَشَآقُّواْ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗا وَسَيُحۡبِطُ أَعۡمَٰلَهُمۡ

32. Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 47

۞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ وَلَا تُبۡطِلُوٓاْ أَعۡمَٰلَكُمۡ

33. Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 47

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ مَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٞ فَلَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَهُمۡ

34. Mazima abo abaakafuwala era nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 47

فَلَا تَهِنُواْ وَتَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱلسَّلۡمِ وَأَنتُمُ ٱلۡأَعۡلَوۡنَ وَٱللَّهُ مَعَكُمۡ وَلَن يَتِرَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ

35. Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 47

إِنَّمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا لَعِبٞ وَلَهۡوٞۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ يُؤۡتِكُمۡ أُجُورَكُمۡ وَلَا يَسۡـَٔلۡكُمۡ أَمۡوَٰلَكُمۡ

36. Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 47

إِن يَسۡـَٔلۡكُمُوهَا فَيُحۡفِكُمۡ تَبۡخَلُواْ وَيُخۡرِجۡ أَضۡغَٰنَكُمۡ

37. Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 47

هَٰٓأَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ تُدۡعَوۡنَ لِتُنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَمِنكُم مَّن يَبۡخَلُۖ وَمَن يَبۡخَلۡ فَإِنَّمَا يَبۡخَلُ عَن نَّفۡسِهِۦۚ وَٱللَّهُ ٱلۡغَنِيُّ وَأَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُۚ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ يَسۡتَبۡدِلۡ قَوۡمًا غَيۡرَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُونُوٓاْ أَمۡثَٰلَكُم

38. Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe. info
التفاسير: