വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
24 : 4

۞ وَٱلۡمُحۡصَنَٰتُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۖ كِتَٰبَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ وَأُحِلَّ لَكُم مَّا وَرَآءَ ذَٰلِكُمۡ أَن تَبۡتَغُواْ بِأَمۡوَٰلِكُم مُّحۡصِنِينَ غَيۡرَ مُسَٰفِحِينَۚ فَمَا ٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِهِۦ مِنۡهُنَّ فَـَٔاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ فَرِيضَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا تَرَٰضَيۡتُم بِهِۦ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡفَرِيضَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا

24. Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo mpozzi abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, bino byonna Katonda abibataddeko nga kiragiro ekiva gyali. Mukkirizibwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, abo bwe mubanga musanyuse nabo, mubawe Amahare gaabwe, nga Katonda bweyakiraalika. Temulina kibi kwekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvanyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 4

وَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ مِنكُمۡ طَوۡلًا أَن يَنكِحَ ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ فَمِن مَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُم مِّن فَتَيَٰتِكُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِإِيمَٰنِكُمۚ بَعۡضُكُم مِّنۢ بَعۡضٖۚ فَٱنكِحُوهُنَّ بِإِذۡنِ أَهۡلِهِنَّ وَءَاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِ مُحۡصَنَٰتٍ غَيۡرَ مُسَٰفِحَٰتٖ وَلَا مُتَّخِذَٰتِ أَخۡدَانٖۚ فَإِذَآ أُحۡصِنَّ فَإِنۡ أَتَيۡنَ بِفَٰحِشَةٖ فَعَلَيۡهِنَّ نِصۡفُ مَا عَلَى ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ مِنَ ٱلۡعَذَابِۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ ٱلۡعَنَتَ مِنكُمۡۚ وَأَن تَصۡبِرُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡۗ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

25. Nooyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza, awase mwabo emikono gyammwe begyaafuna nga eminyago mu bawala ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe mu buntu bulamu, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebayingira mu bwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana ba'boobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) kyoyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi kyobwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 4

يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُبَيِّنَ لَكُمۡ وَيَهۡدِيَكُمۡ سُنَنَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَيَتُوبَ عَلَيۡكُمۡۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ

26. Katonda ayagala okubannyonnyola era abalungamye ku nkola y’abo abaabakulembera, era akkirize okwenenya kwa mmwe. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo ate agoba nsonga. info
التفاسير: