വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
16 : 33

قُل لَّن يَنفَعَكُمُ ٱلۡفِرَارُ إِن فَرَرۡتُم مِّنَ ٱلۡمَوۡتِ أَوِ ٱلۡقَتۡلِ وَإِذٗا لَّا تُمَتَّعُونَ إِلَّا قَلِيلٗا

16 . Bagambe (gwe Muhammad) bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okugyako akaseera katono. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 33

قُلۡ مَن ذَا ٱلَّذِي يَعۡصِمُكُم مِّنَ ٱللَّهِ إِنۡ أَرَادَ بِكُمۡ سُوٓءًا أَوۡ أَرَادَ بِكُمۡ رَحۡمَةٗۚ وَلَا يَجِدُونَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا

17 . Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 33

۞ قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلۡمُعَوِّقِينَ مِنكُمۡ وَٱلۡقَآئِلِينَ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ هَلُمَّ إِلَيۡنَاۖ وَلَا يَأۡتُونَ ٱلۡبَأۡسَ إِلَّا قَلِيلًا

18 . Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 33

أَشِحَّةً عَلَيۡكُمۡۖ فَإِذَا جَآءَ ٱلۡخَوۡفُ رَأَيۡتَهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ تَدُورُ أَعۡيُنُهُمۡ كَٱلَّذِي يُغۡشَىٰ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَإِذَا ذَهَبَ ٱلۡخَوۡفُ سَلَقُوكُم بِأَلۡسِنَةٍ حِدَادٍ أَشِحَّةً عَلَى ٱلۡخَيۡرِۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَمۡ يُؤۡمِنُواْ فَأَحۡبَطَ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا

19 . Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 33

يَحۡسَبُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ لَمۡ يَذۡهَبُواْۖ وَإِن يَأۡتِ ٱلۡأَحۡزَابُ يَوَدُّواْ لَوۡ أَنَّهُم بَادُونَ فِي ٱلۡأَعۡرَابِ يَسۡـَٔلُونَ عَنۡ أَنۢبَآئِكُمۡۖ وَلَوۡ كَانُواْ فِيكُم مَّا قَٰتَلُوٓاْ إِلَّا قَلِيلٗا

20 . (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 33

لَّقَدۡ كَانَ لَكُمۡ فِي رَسُولِ ٱللَّهِ أُسۡوَةٌ حَسَنَةٞ لِّمَن كَانَ يَرۡجُواْ ٱللَّهَ وَٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَ وَذَكَرَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا

21 . Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 33

وَلَمَّا رَءَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ قَالُواْ هَٰذَا مَا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَصَدَقَ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥۚ وَمَا زَادَهُمۡ إِلَّآ إِيمَٰنٗا وَتَسۡلِيمٗا

22 . Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino kyekyo Katonda n'omubakawe kye baatulagaanyisa, era Katonda n'omubakawe bayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okugyako obukkiriza n'okwewa Katonda. info
التفاسير: