വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
15 : 29

فَأَنجَيۡنَٰهُ وَأَصۡحَٰبَ ٱلسَّفِينَةِ وَجَعَلۡنَٰهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ

15 . Netumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 29

وَإِبۡرَٰهِيمَ إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُۖ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

16 . Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibrahim bwe yagamba abantube nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 29

إِنَّمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنٗا وَتَخۡلُقُونَ إِفۡكًاۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ لَكُمۡ رِزۡقٗا فَٱبۡتَغُواْ عِندَ ٱللَّهِ ٱلرِّزۡقَ وَٱعۡبُدُوهُ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥٓۖ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

17 . Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 29

وَإِن تُكَذِّبُواْ فَقَدۡ كَذَّبَ أُمَمٞ مِّن قَبۡلِكُمۡۖ وَمَا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ

18 . Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa oluberyeberye lwa mmwe, ate omubaka tavunaanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka) okweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 29

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ كَيۡفَ يُبۡدِئُ ٱللَّهُ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥٓۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ

19 . Abaffe tebalaba engeri Katonda gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvanyuma n'abizzaawo mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 29

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ بَدَأَ ٱلۡخَلۡقَۚ ثُمَّ ٱللَّهُ يُنشِئُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأٓخِرَةَۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ

20 . Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Katonda agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Katonda muyinza ku buli kintu. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 29

يُعَذِّبُ مَن يَشَآءُ وَيَرۡحَمُ مَن يَشَآءُۖ وَإِلَيۡهِ تُقۡلَبُونَ

21 . Abonereza oyo gwaba ayagadde era n'asaasira oyo gwaba ayagadde era gyali gye mulikyusibwa okudda. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 29

وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِۖ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٖ

22 . Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 29

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَلِقَآئِهِۦٓ أُوْلَٰٓئِكَ يَئِسُواْ مِن رَّحۡمَتِي وَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

23 . Abo abawakanya ebigambo bya Katonda n'okumusisinkana abo baakutuka n'okusuubira okusaasira kwange era abo balina ebibonerezo e biruma ennyo. info
التفاسير: