വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
184 : 26

وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلۡجِبِلَّةَ ٱلۡأَوَّلِينَ

184 . Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
185 : 26

قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ

185 . Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge. info
التفاسير:

external-link copy
186 : 26

وَمَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَإِن نَّظُنُّكَ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ

186 . Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba. info
التفاسير:

external-link copy
187 : 26

فَأَسۡقِطۡ عَلَيۡنَا كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ

187 . Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima. info
التفاسير:

external-link copy
188 : 26

قَالَ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ

188 . Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola. info
التفاسير:

external-link copy
189 : 26

فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمِ ٱلظُّلَّةِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ

189 . Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito. info
التفاسير:

external-link copy
190 : 26

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

190 . Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
191 : 26

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

191 . Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
192 : 26

وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

192 . Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna. info
التفاسير:

external-link copy
193 : 26

نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ

193 . Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu). info
التفاسير:

external-link copy
194 : 26

عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ

194 . (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi). info
التفاسير:

external-link copy
195 : 26

بِلِسَانٍ عَرَبِيّٖ مُّبِينٖ

195 . Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka. info
التفاسير:

external-link copy
196 : 26

وَإِنَّهُۥ لَفِي زُبُرِ ٱلۡأَوَّلِينَ

196 . Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
197 : 26

أَوَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ ءَايَةً أَن يَعۡلَمَهُۥ عُلَمَٰٓؤُاْ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ

197 . Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil. info
التفاسير:

external-link copy
198 : 26

وَلَوۡ نَزَّلۡنَٰهُ عَلَىٰ بَعۡضِ ٱلۡأَعۡجَمِينَ

198 . Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu. info
التفاسير:

external-link copy
199 : 26

فَقَرَأَهُۥ عَلَيۡهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ مُؤۡمِنِينَ

199 . Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza. info
التفاسير:

external-link copy
200 : 26

كَذَٰلِكَ سَلَكۡنَٰهُ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ

200 . Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
201 : 26

لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ

201 . Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
202 : 26

فَيَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

202 . Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde. info
التفاسير:

external-link copy
203 : 26

فَيَقُولُواْ هَلۡ نَحۡنُ مُنظَرُونَ

203 . Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
204 : 26

أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ

204 . Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu?. info
التفاسير:

external-link copy
205 : 26

أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ

205 . Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera). info
التفاسير:

external-link copy
206 : 26

ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ

206 . Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa. info
التفاسير: