വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
52 : 20

قَالَ عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّي فِي كِتَٰبٖۖ لَّا يَضِلُّ رَبِّي وَلَا يَنسَى

52 . (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 20

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَسَلَكَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّن نَّبَاتٖ شَتَّىٰ

53 . (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 20

كُلُواْ وَٱرۡعَوۡاْ أَنۡعَٰمَكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ

54 . (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 20

۞ مِنۡهَا خَلَقۡنَٰكُمۡ وَفِيهَا نُعِيدُكُمۡ وَمِنۡهَا نُخۡرِجُكُمۡ تَارَةً أُخۡرَىٰ

55 . Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 20

وَلَقَدۡ أَرَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا كُلَّهَا فَكَذَّبَ وَأَبَىٰ

56 . Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 20

قَالَ أَجِئۡتَنَا لِتُخۡرِجَنَا مِنۡ أَرۡضِنَا بِسِحۡرِكَ يَٰمُوسَىٰ

57 . (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 20

فَلَنَأۡتِيَنَّكَ بِسِحۡرٖ مِّثۡلِهِۦ فَٱجۡعَلۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكَ مَوۡعِدٗا لَّا نُخۡلِفُهُۥ نَحۡنُ وَلَآ أَنتَ مَكَانٗا سُوٗى

58 . Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi). info
التفاسير:

external-link copy
59 : 20

قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى

59 . (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 20

فَتَوَلَّىٰ فِرۡعَوۡنُ فَجَمَعَ كَيۡدَهُۥ ثُمَّ أَتَىٰ

60 . Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye). info
التفاسير:

external-link copy
61 : 20

قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ وَيۡلَكُمۡ لَا تَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا فَيُسۡحِتَكُم بِعَذَابٖۖ وَقَدۡ خَابَ مَنِ ٱفۡتَرَىٰ

61 . Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 20

فَتَنَٰزَعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَىٰ

62 . (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 20

قَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَٰنِ لَسَٰحِرَٰنِ يُرِيدَانِ أَن يُخۡرِجَاكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِمَا وَيَذۡهَبَا بِطَرِيقَتِكُمُ ٱلۡمُثۡلَىٰ

63 . Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 20

فَأَجۡمِعُواْ كَيۡدَكُمۡ ثُمَّ ٱئۡتُواْ صَفّٗاۚ وَقَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡيَوۡمَ مَنِ ٱسۡتَعۡلَىٰ

64 . Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye. info
التفاسير: