വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

external-link copy
68 : 2

قَالُواْ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ يُبَيِّن لَّنَا مَا هِيَۚ قَالَ إِنَّهُۥ يَقُولُ إِنَّهَا بَقَرَةٞ لَّا فَارِضٞ وَلَا بِكۡرٌ عَوَانُۢ بَيۡنَ ذَٰلِكَۖ فَٱفۡعَلُواْ مَا تُؤۡمَرُونَ

68. Abayudaaya nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa naagamba nti; mazima Katonda agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa. info
التفاسير: