വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
77 : 19

أَفَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي كَفَرَ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالَ لَأُوتَيَنَّ مَالٗا وَوَلَدًا

77 . Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 19

أَطَّلَعَ ٱلۡغَيۡبَ أَمِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا

78 . Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
79 : 19

كَلَّاۚ سَنَكۡتُبُ مَا يَقُولُ وَنَمُدُّ لَهُۥ مِنَ ٱلۡعَذَابِ مَدّٗا

79 . Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 19

وَنَرِثُهُۥ مَا يَقُولُ وَيَأۡتِينَا فَرۡدٗا

80 . Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 19

وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لِّيَكُونُواْ لَهُمۡ عِزّٗا

81 . Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 19

كَلَّاۚ سَيَكۡفُرُونَ بِعِبَادَتِهِمۡ وَيَكُونُونَ عَلَيۡهِمۡ ضِدًّا

82 . Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 19

أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزّٗا

83 . Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 19

فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدّٗا

84 . Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 19

يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدٗا

85 . (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 19

وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدٗا

86 . Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 19

لَّا يَمۡلِكُونَ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَنِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا

87 . Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 19

وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗا

88 . (Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 19

لَّقَدۡ جِئۡتُمۡ شَيۡـًٔا إِدّٗا

89 . Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 19

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِنۡهُ وَتَنشَقُّ ٱلۡأَرۡضُ وَتَخِرُّ ٱلۡجِبَالُ هَدًّا

90 . Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose. info
التفاسير:

external-link copy
91 : 19

أَن دَعَوۡاْ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٗا

91 . Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana. info
التفاسير:

external-link copy
92 : 19

وَمَا يَنۢبَغِي لِلرَّحۡمَٰنِ أَن يَتَّخِذَ وَلَدًا

92 . Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana. info
التفاسير:

external-link copy
93 : 19

إِن كُلُّ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّآ ءَاتِي ٱلرَّحۡمَٰنِ عَبۡدٗا

93 . Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu. info
التفاسير:

external-link copy
94 : 19

لَّقَدۡ أَحۡصَىٰهُمۡ وَعَدَّهُمۡ عَدّٗا

94 . Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala. info
التفاسير:

external-link copy
95 : 19

وَكُلُّهُمۡ ءَاتِيهِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَرۡدًا

95 . Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu. info
التفاسير: