വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
103 : 16

وَلَقَدۡ نَعۡلَمُ أَنَّهُمۡ يَقُولُونَ إِنَّمَا يُعَلِّمُهُۥ بَشَرٞۗ لِّسَانُ ٱلَّذِي يُلۡحِدُونَ إِلَيۡهِ أَعۡجَمِيّٞ وَهَٰذَا لِسَانٌ عَرَبِيّٞ مُّبِينٌ

103. Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
104 : 16

إِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَا يَهۡدِيهِمُ ٱللَّهُ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ

104. Mazima abo abatakkiriza bigambo bya Katonda, Katonda tabalungamya era baakutukibwako ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
105 : 16

إِنَّمَا يَفۡتَرِي ٱلۡكَذِبَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰذِبُونَ

105. Mazima abagunjawo obulimba beebo abatakkiriza bigambo bya Katonda era abo bo be balimba. info
التفاسير:

external-link copy
106 : 16

مَن كَفَرَ بِٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ إِيمَٰنِهِۦٓ إِلَّا مَنۡ أُكۡرِهَ وَقَلۡبُهُۥ مُطۡمَئِنُّۢ بِٱلۡإِيمَٰنِ وَلَٰكِن مَّن شَرَحَ بِٱلۡكُفۡرِ صَدۡرٗا فَعَلَيۡهِمۡ غَضَبٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

106. Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu. info
التفاسير:

external-link copy
107 : 16

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱسۡتَحَبُّواْ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا عَلَى ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

107. Ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo baagala obulamu obw'ensi okusinga obw'enkomerero, era mazima Katonda talungamya bantu bakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
108 : 16

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَسَمۡعِهِمۡ وَأَبۡصَٰرِهِمۡۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ

108. Abo beebo Katonda beyazibikira emitima gyabwe n'amatu gaabwe n'amaaso gaabwe era abo bo be batafaayo. info
التفاسير:

external-link copy
109 : 16

لَا جَرَمَ أَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ

109. Tewali kubuusabuusa mazima bo ku nkomerero be b'okufaafaaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
110 : 16

ثُمَّ إِنَّ رَبَّكَ لِلَّذِينَ هَاجَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا فُتِنُواْ ثُمَّ جَٰهَدُواْ وَصَبَرُوٓاْ إِنَّ رَبَّكَ مِنۢ بَعۡدِهَا لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ

110. Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku nsonga y'abo abaasenguka oluvanyuma lw'okunyigirizibwa ate nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda era nebagumiikiriza, mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi musaasizi. info
التفاسير: