വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
31 : 12

فَلَمَّا سَمِعَتۡ بِمَكۡرِهِنَّ أَرۡسَلَتۡ إِلَيۡهِنَّ وَأَعۡتَدَتۡ لَهُنَّ مُتَّكَـٔٗا وَءَاتَتۡ كُلَّ وَٰحِدَةٖ مِّنۡهُنَّ سِكِّينٗا وَقَالَتِ ٱخۡرُجۡ عَلَيۡهِنَّۖ فَلَمَّا رَأَيۡنَهُۥٓ أَكۡبَرۡنَهُۥ وَقَطَّعۡنَ أَيۡدِيَهُنَّ وَقُلۡنَ حَٰشَ لِلَّهِ مَا هَٰذَا بَشَرًا إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا مَلَكٞ كَرِيمٞ

31. Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 12

قَالَتۡ فَذَٰلِكُنَّ ٱلَّذِي لُمۡتُنَّنِي فِيهِۖ وَلَقَدۡ رَٰوَدتُّهُۥ عَن نَّفۡسِهِۦ فَٱسۡتَعۡصَمَۖ وَلَئِن لَّمۡ يَفۡعَلۡ مَآ ءَامُرُهُۥ لَيُسۡجَنَنَّ وَلَيَكُونٗا مِّنَ ٱلصَّٰغِرِينَ

32. Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 12

قَالَ رَبِّ ٱلسِّجۡنُ أَحَبُّ إِلَيَّ مِمَّا يَدۡعُونَنِيٓ إِلَيۡهِۖ وَإِلَّا تَصۡرِفۡ عَنِّي كَيۡدَهُنَّ أَصۡبُ إِلَيۡهِنَّ وَأَكُن مِّنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ

33. (Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 12

فَٱسۡتَجَابَ لَهُۥ رَبُّهُۥ فَصَرَفَ عَنۡهُ كَيۡدَهُنَّۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

34. Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 12

ثُمَّ بَدَا لَهُم مِّنۢ بَعۡدِ مَا رَأَوُاْ ٱلۡأٓيَٰتِ لَيَسۡجُنُنَّهُۥ حَتَّىٰ حِينٖ

35. (Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 12

وَدَخَلَ مَعَهُ ٱلسِّجۡنَ فَتَيَانِۖ قَالَ أَحَدُهُمَآ إِنِّيٓ أَرَىٰنِيٓ أَعۡصِرُ خَمۡرٗاۖ وَقَالَ ٱلۡأٓخَرُ إِنِّيٓ أَرَىٰنِيٓ أَحۡمِلُ فَوۡقَ رَأۡسِي خُبۡزٗا تَأۡكُلُ ٱلطَّيۡرُ مِنۡهُۖ نَبِّئۡنَا بِتَأۡوِيلِهِۦٓۖ إِنَّا نَرَىٰكَ مِنَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ

36. Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 12

قَالَ لَا يَأۡتِيكُمَا طَعَامٞ تُرۡزَقَانِهِۦٓ إِلَّا نَبَّأۡتُكُمَا بِتَأۡوِيلِهِۦ قَبۡلَ أَن يَأۡتِيَكُمَاۚ ذَٰلِكُمَا مِمَّا عَلَّمَنِي رَبِّيٓۚ إِنِّي تَرَكۡتُ مِلَّةَ قَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ كَٰفِرُونَ

37. (Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero. info
التفاسير: