ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

An – Naziaat

external-link copy
1 : 79

وَٱلنَّٰزِعَٰتِ غَرۡقٗا

1. Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 79

وَٱلنَّٰشِطَٰتِ نَشۡطٗا

2. Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 79

وَٱلسَّٰبِحَٰتِ سَبۡحٗا

3. Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 79

فَٱلسَّٰبِقَٰتِ سَبۡقٗا

4. Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 79

فَٱلۡمُدَبِّرَٰتِ أَمۡرٗا

5. Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 79

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلرَّاجِفَةُ

6. (Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 79

تَتۡبَعُهَا ٱلرَّادِفَةُ

7. Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 79

قُلُوبٞ يَوۡمَئِذٖ وَاجِفَةٌ

8. E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 79

أَبۡصَٰرُهَا خَٰشِعَةٞ

9. Amaaso gaabwe nga makkakkamu. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 79

يَقُولُونَ أَءِنَّا لَمَرۡدُودُونَ فِي ٱلۡحَافِرَةِ

10. Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati?" info
التفاسير:

external-link copy
11 : 79

أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا نَّخِرَةٗ

11. Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu? info
التفاسير:

external-link copy
12 : 79

قَالُواْ تِلۡكَ إِذٗا كَرَّةٌ خَاسِرَةٞ

12. Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 79

فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ

13. Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 79

فَإِذَا هُم بِٱلسَّاهِرَةِ

14. Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 79

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ

15. Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa? info
التفاسير:

external-link copy
16 : 79

إِذۡ نَادَىٰهُ رَبُّهُۥ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوًى

16. Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa'? info
التفاسير: