ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

Al-Kiyamah

external-link copy
1 : 75

لَآ أُقۡسِمُ بِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ

1. Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 75

وَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلنَّفۡسِ ٱللَّوَّامَةِ

2. Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 75

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَلَّن نَّجۡمَعَ عِظَامَهُۥ

3. Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 75

بَلَىٰ قَٰدِرِينَ عَلَىٰٓ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُۥ

4. Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 75

بَلۡ يُرِيدُ ٱلۡإِنسَٰنُ لِيَفۡجُرَ أَمَامَهُۥ

5. Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 75

يَسۡـَٔلُ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلۡقِيَٰمَةِ

6. Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 75

فَإِذَا بَرِقَ ٱلۡبَصَرُ

7. Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 75

وَخَسَفَ ٱلۡقَمَرُ

8. Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 75

وَجُمِعَ ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ

9. Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana). info
التفاسير:

external-link copy
10 : 75

يَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذٍ أَيۡنَ ٱلۡمَفَرُّ

10. Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa!. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 75

كَلَّا لَا وَزَرَ

11. Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 75

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمُسۡتَقَرُّ

12. Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 75

يُنَبَّؤُاْ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذِۭ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ

13. Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 75

بَلِ ٱلۡإِنسَٰنُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ بَصِيرَةٞ

14. Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 75

وَلَوۡ أَلۡقَىٰ مَعَاذِيرَهُۥ

15. Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 75

لَا تُحَرِّكۡ بِهِۦ لِسَانَكَ لِتَعۡجَلَ بِهِۦٓ

16. Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 75

إِنَّ عَلَيۡنَا جَمۡعَهُۥ وَقُرۡءَانَهُۥ

17. Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 75

فَإِذَا قَرَأۡنَٰهُ فَٱتَّبِعۡ قُرۡءَانَهُۥ

18. Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 75

ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا بَيَانَهُۥ

19. Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe. info
التفاسير: