ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
19 : 74

فَقُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ

19. Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 74

ثُمَّ قُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ

20. Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 74

ثُمَّ نَظَرَ

21. Oluvanyuma yakirowozaako. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 74

ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ

22. Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 74

ثُمَّ أَدۡبَرَ وَٱسۡتَكۡبَرَ

23. Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 74

فَقَالَ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ يُؤۡثَرُ

24. Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 74

إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا قَوۡلُ ٱلۡبَشَرِ

25. Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu! info
التفاسير:

external-link copy
26 : 74

سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ

26. (Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 74

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ

27. Naye omanyi Sakara kyeki. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 74

لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ

28. Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 74

لَوَّاحَةٞ لِّلۡبَشَرِ

29. Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 74

عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ

30. Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 74

وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَٰٓئِكَةٗۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنٗا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ

31. Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 74

كَلَّا وَٱلۡقَمَرِ

32. Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 74

وَٱلَّيۡلِ إِذۡ أَدۡبَرَ

33. Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 74

وَٱلصُّبۡحِ إِذَآ أَسۡفَرَ

34. Ne ndayira n'amakya ngabusasaana. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 74

إِنَّهَا لَإِحۡدَى ٱلۡكُبَرِ

35. Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 74

نَذِيرٗا لِّلۡبَشَرِ

36. Ebyandibadde bibuulirira omuntu. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 74

لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَتَقَدَّمَ أَوۡ يَتَأَخَّرَ

37. Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 74

كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ رَهِينَةٌ

38. Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 74

إِلَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡيَمِينِ

39. Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 74

فِي جَنَّٰتٖ يَتَسَآءَلُونَ

40. Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 74

عَنِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ

41. Ku bonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 74

مَا سَلَكَكُمۡ فِي سَقَرَ

42. Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 74

قَالُواْ لَمۡ نَكُ مِنَ ٱلۡمُصَلِّينَ

43. Baligamba nti tetubangako mu basaaze. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 74

وَلَمۡ نَكُ نُطۡعِمُ ٱلۡمِسۡكِينَ

44. Era tetwaliisanga banaku. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 74

وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ ٱلۡخَآئِضِينَ

45. Twabeeranga nabakubi bambekuulo. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 74

وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ

46. Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 74

حَتَّىٰٓ أَتَىٰنَا ٱلۡيَقِينُ

47. Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako. info
التفاسير: