ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
10 : 64

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ

10. Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 64

مَآ أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ يَهۡدِ قَلۡبَهُۥۚ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ

11. Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 64

وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَۚ فَإِن تَوَلَّيۡتُمۡ فَإِنَّمَا عَلَىٰ رَسُولِنَا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ

12. Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 64

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ

13. Katonda ye yekka asinzibwa, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 64

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ مِنۡ أَزۡوَٰجِكُمۡ وَأَوۡلَٰدِكُمۡ عَدُوّٗا لَّكُمۡ فَٱحۡذَرُوهُمۡۚ وَإِن تَعۡفُواْ وَتَصۡفَحُواْ وَتَغۡفِرُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ

14. Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala ba mmwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 64

إِنَّمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَأَوۡلَٰدُكُمۡ فِتۡنَةٞۚ وَٱللَّهُ عِندَهُۥٓ أَجۡرٌ عَظِيمٞ

15. Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Katonda we wali empeera ensukkulumu. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 64

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُمۡ وَٱسۡمَعُواْ وَأَطِيعُواْ وَأَنفِقُواْ خَيۡرٗا لِّأَنفُسِكُمۡۗ وَمَن يُوقَ شُحَّ نَفۡسِهِۦ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

16. Kale nno mutye Katonda nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 64

إِن تُقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا يُضَٰعِفۡهُ لَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ شَكُورٌ حَلِيمٌ

17. Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 64

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

18. (Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga asinziira ku nsonga. info
التفاسير: