ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
6 : 60

لَقَدۡ كَانَ لَكُمۡ فِيهِمۡ أُسۡوَةٌ حَسَنَةٞ لِّمَن كَانَ يَرۡجُواْ ٱللَّهَ وَٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَۚ وَمَن يَتَوَلَّ فَإِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ

6. Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 60

۞ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَجۡعَلَ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ عَادَيۡتُم مِّنۡهُم مَّوَدَّةٗۚ وَٱللَّهُ قَدِيرٞۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

7. Wabula Katonda asobola okussa wakati wa mmwe ne be muwalaggana nabo e nkolagana ennungi. Anti Katonda muyinza, era Katonda musonyiyi omusaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 60

لَّا يَنۡهَىٰكُمُ ٱللَّهُ عَنِ ٱلَّذِينَ لَمۡ يُقَٰتِلُوكُمۡ فِي ٱلدِّينِ وَلَمۡ يُخۡرِجُوكُم مِّن دِيَٰرِكُمۡ أَن تَبَرُّوهُمۡ وَتُقۡسِطُوٓاْ إِلَيۡهِمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُقۡسِطِينَ

8. Katonda tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima Katonda ayagala abenkanya. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 60

إِنَّمَا يَنۡهَىٰكُمُ ٱللَّهُ عَنِ ٱلَّذِينَ قَٰتَلُوكُمۡ فِي ٱلدِّينِ وَأَخۡرَجُوكُم مِّن دِيَٰرِكُمۡ وَظَٰهَرُواْ عَلَىٰٓ إِخۡرَاجِكُمۡ أَن تَوَلَّوۡهُمۡۚ وَمَن يَتَوَلَّهُمۡ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ

9. Mazima ddala Katonda abagaana okukolagana naabo abaabalwanyisa olw'eddiini, ne babagobaganya okuva mu nsi yammwe, ne bakola kinene nnyo mu kubagobaganya. Oyo yenna akolagana nabo, abo nno be balyazamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 60

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا جَآءَكُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ مُهَٰجِرَٰتٖ فَٱمۡتَحِنُوهُنَّۖ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِإِيمَٰنِهِنَّۖ فَإِنۡ عَلِمۡتُمُوهُنَّ مُؤۡمِنَٰتٖ فَلَا تَرۡجِعُوهُنَّ إِلَى ٱلۡكُفَّارِۖ لَا هُنَّ حِلّٞ لَّهُمۡ وَلَا هُمۡ يَحِلُّونَ لَهُنَّۖ وَءَاتُوهُم مَّآ أَنفَقُواْۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ أَن تَنكِحُوهُنَّ إِذَآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ أُجُورَهُنَّۚ وَلَا تُمۡسِكُواْ بِعِصَمِ ٱلۡكَوَافِرِ وَسۡـَٔلُواْ مَآ أَنفَقۡتُمۡ وَلۡيَسۡـَٔلُواْ مَآ أَنفَقُواْۚ ذَٰلِكُمۡ حُكۡمُ ٱللَّهِ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡۖ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ

10. Abange mmwe abakkiriza singa abakyala abakkiriza babajjira nga basenguse mubagezesenga. Yye Katonda obukkiriza bwabwe aba abumanyi, bwe mukakasa nti bakkiriza temubaddizanga abakafiiri, abakyala bano tebali Halali ku bakafiiri abo nga n'abakafiiri abo bwe batali halali ku bakyala abo, wabula bo abasajja (Abakafiiri) mubaddize bye baawaayo mu kubawasa, olwo nno tekiba kibi bwe mubawasa nga mubawadde amahare gaabwe. Temwesiba ku kuwoowa okwekikafiiri kwe mwakola nabo. Mubasabe babaddize byemwawaayo nga nabo bwe basobola okusaba bye bawaayo. Ebyo nno kwe kulamula kwa Katonda kwabalamuza. Anti Katonda mumanyi nnyo ateeka buli kintu mussa lyakyo. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 60

وَإِن فَاتَكُمۡ شَيۡءٞ مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۡ إِلَى ٱلۡكُفَّارِ فَعَاقَبۡتُمۡ فَـَٔاتُواْ ٱلَّذِينَ ذَهَبَتۡ أَزۡوَٰجُهُم مِّثۡلَ مَآ أَنفَقُواْۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِيٓ أَنتُم بِهِۦ مُؤۡمِنُونَ

11. Singa omukyala w'omu ku mmwe ava mu busiramu nadda mu bukafiiri kemulwanagana nabo ne mumala mufunayo eminyago muteekwa okusasula abo abaddukwako bakyala baabwe ekigero kyekyo kye bawaayo nga babawasa. Bulijjo muteekwa okuba nga mutya Katonda oyo gwemukkiriza. info
التفاسير: