ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
125 : 6

فَمَن يُرِدِ ٱللَّهُ أَن يَهۡدِيَهُۥ يَشۡرَحۡ صَدۡرَهُۥ لِلۡإِسۡلَٰمِۖ وَمَن يُرِدۡ أَن يُضِلَّهُۥ يَجۡعَلۡ صَدۡرَهُۥ ضَيِّقًا حَرَجٗا كَأَنَّمَا يَصَّعَّدُ فِي ٱلسَّمَآءِۚ كَذَٰلِكَ يَجۡعَلُ ٱللَّهُ ٱلرِّجۡسَ عَلَى ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ

125. So nno omuntu Katonda gwaba ayagadde okulungamya ayanjuluza e kifuba kye eri obusiramu, n'oyo gwaba ayagadde okubuza afunza e kifuba kye n'atuuka okuba nga tawulira bulungi n’aba nga oyo agenda wa ggulu (space) bwatyo Katonda bwassa e kibonerezo kwabo abatakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
126 : 6

وَهَٰذَا صِرَٰطُ رَبِّكَ مُسۡتَقِيمٗاۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ

126. Lino lye kkubo lya Mukama omulabirizi wo e ggolokofu, mazima e bigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira. info
التفاسير:

external-link copy
127 : 6

۞ لَهُمۡ دَارُ ٱلسَّلَٰمِ عِندَ رَبِّهِمۡۖ وَهُوَ وَلِيُّهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

127. Olw'ebyo bye baali bakola ku nsi bagenda kufuna e nyumba ey'emirembe ewa Mukama omulabirizi waabwe, era yye ye mutaasa waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
128 : 6

وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ قَدِ ٱسۡتَكۡثَرۡتُم مِّنَ ٱلۡإِنسِۖ وَقَالَ أَوۡلِيَآؤُهُم مِّنَ ٱلۡإِنسِ رَبَّنَا ٱسۡتَمۡتَعَ بَعۡضُنَا بِبَعۡضٖ وَبَلَغۡنَآ أَجَلَنَا ٱلَّذِيٓ أَجَّلۡتَ لَنَاۚ قَالَ ٱلنَّارُ مَثۡوَىٰكُمۡ خَٰلِدِينَ فِيهَآ إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ

128. (Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
129 : 6

وَكَذَٰلِكَ نُوَلِّي بَعۡضَ ٱلظَّٰلِمِينَ بَعۡضَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

129. Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola. info
التفاسير:

external-link copy
130 : 6

يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَقُصُّونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِي وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ شَهِدۡنَا عَلَىٰٓ أَنفُسِنَاۖ وَغَرَّتۡهُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَشَهِدُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰفِرِينَ

130. Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri. info
التفاسير: