ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
12 : 58

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نَٰجَيۡتُمُ ٱلرَّسُولَ فَقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَةٗۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لَّكُمۡ وَأَطۡهَرُۚ فَإِن لَّمۡ تَجِدُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ

12. Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 58

ءَأَشۡفَقۡتُمۡ أَن تُقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَٰتٖۚ فَإِذۡ لَمۡ تَفۡعَلُواْ وَتَابَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ

13. Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 58

۞ أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ تَوَلَّوۡاْ قَوۡمًا غَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مَّا هُم مِّنكُمۡ وَلَا مِنۡهُمۡ وَيَحۡلِفُونَ عَلَى ٱلۡكَذِبِ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ

14. Abaffe tewamanya abo abakwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira, abantu abo mu butuufu si ba mu mmwe wadde si ba mu bali (Bebakwanagana nabo) nebatuuka n'okulayira ku bulimba nga ate ddala bamanyi (ekituufu). info
التفاسير:

external-link copy
15 : 58

أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدًاۖ إِنَّهُمۡ سَآءَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

15. Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, anti mazima byonna byebaakolanga bibi. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 58

ٱتَّخَذُوٓاْ أَيۡمَٰنَهُمۡ جُنَّةٗ فَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ فَلَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ

16. (Okulayira kwabwe nti basiramu) baakifuula ekyokuwona, olwo nno nebaziyiza abantu okukola emirimu gya Katonda, bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebinyomesa. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 58

لَّن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔاۚ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

17. Emaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu mumaaso g'a Katonda. Abo be bantu bo mumuliro ab'okugubeeramu obugenderevu. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 58

يَوۡمَ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ جَمِيعٗا فَيَحۡلِفُونَ لَهُۥ كَمَا يَحۡلِفُونَ لَكُمۡ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُمۡ عَلَىٰ شَيۡءٍۚ أَلَآ إِنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡكَٰذِبُونَ

18. Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna nebamulayirira nga bwebaabalayirira mmwe ku nsi nga balowooza nti kyebakoze kyakubagasa. Abange, abo nno beebalimba bennyini. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 58

ٱسۡتَحۡوَذَ عَلَيۡهِمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ فَأَنسَىٰهُمۡ ذِكۡرَ ٱللَّهِۚ أُوْلَٰٓئِكَ حِزۡبُ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ أَلَآ إِنَّ حِزۡبَ ٱلشَّيۡطَٰنِ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ

19. Sitaane yabeefunza okutuusa lweyabeerabiza okwogera ku Katonda. Abo nno be bagoberezi ba Sitaane. Mukimanye nti mazima ab'ekibiina kya Sitaane be b'okufafaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 58

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحَآدُّونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓ أُوْلَٰٓئِكَ فِي ٱلۡأَذَلِّينَ

20. Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 58

كَتَبَ ٱللَّهُ لَأَغۡلِبَنَّ أَنَا۠ وَرُسُلِيٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ قَوِيٌّ عَزِيزٞ

21. (Katonda) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono. info
التفاسير: