ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
32 : 52

أَمۡ تَأۡمُرُهُمۡ أَحۡلَٰمُهُم بِهَٰذَآۚ أَمۡ هُمۡ قَوۡمٞ طَاغُونَ

32. Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula!. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 52

أَمۡ يَقُولُونَ تَقَوَّلَهُۥۚ بَل لَّا يُؤۡمِنُونَ

33. Oba bagamba nti (Muhammad) yajegunjirawo (Kur’ani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 52

فَلۡيَأۡتُواْ بِحَدِيثٖ مِّثۡلِهِۦٓ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ

34. (Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 52

أَمۡ خُلِقُواْ مِنۡ غَيۡرِ شَيۡءٍ أَمۡ هُمُ ٱلۡخَٰلِقُونَ

35. Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali). info
التفاسير:

external-link copy
36 : 52

أَمۡ خَلَقُواْ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۚ بَل لَّا يُوقِنُونَ

36. Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 52

أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَبِّكَ أَمۡ هُمُ ٱلۡمُصَۜيۡطِرُونَ

37. Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu). info
التفاسير:

external-link copy
38 : 52

أَمۡ لَهُمۡ سُلَّمٞ يَسۡتَمِعُونَ فِيهِۖ فَلۡيَأۡتِ مُسۡتَمِعُهُم بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ

38. Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 52

أَمۡ لَهُ ٱلۡبَنَٰتُ وَلَكُمُ ٱلۡبَنُونَ

39. Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 52

أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرٗا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٖ مُّثۡقَلُونَ

40. Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 52

أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ

41. Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza). info
التفاسير:

external-link copy
42 : 52

أَمۡ يُرِيدُونَ كَيۡدٗاۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هُمُ ٱلۡمَكِيدُونَ

42. Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo). info
التفاسير:

external-link copy
43 : 52

أَمۡ لَهُمۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

43. Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 52

وَإِن يَرَوۡاْ كِسۡفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ سَاقِطٗا يَقُولُواْ سَحَابٞ مَّرۡكُومٞ

44. Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 52

فَذَرۡهُمۡ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي فِيهِ يُصۡعَقُونَ

45. Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 52

يَوۡمَ لَا يُغۡنِي عَنۡهُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ

46. Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 52

وَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ عَذَابٗا دُونَ ذَٰلِكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

47. Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 52

وَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعۡيُنِنَاۖ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ

48. Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala). info
التفاسير:

external-link copy
49 : 52

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَإِدۡبَٰرَ ٱلنُّجُومِ

49. Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira. info
التفاسير: