ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
7 : 51

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡحُبُكِ

7. Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 51

إِنَّكُمۡ لَفِي قَوۡلٖ مُّخۡتَلِفٖ

8. Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kur’ani). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 51

يُؤۡفَكُ عَنۡهُ مَنۡ أُفِكَ

9. Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza). info
التفاسير:

external-link copy
10 : 51

قُتِلَ ٱلۡخَرَّٰصُونَ

10. Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi). info
التفاسير:

external-link copy
11 : 51

ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي غَمۡرَةٖ سَاهُونَ

11. Abo abali mu nnyanga ey’obukaafiiri nga babulubuuta. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 51

يَسۡـَٔلُونَ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلدِّينِ

12. Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi?. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 51

يَوۡمَ هُمۡ عَلَى ٱلنَّارِ يُفۡتَنُونَ

13. Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 51

ذُوقُواْ فِتۡنَتَكُمۡ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تَسۡتَعۡجِلُونَ

14. (Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino kyekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 51

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّٰتٖ وَعُيُونٍ

15. Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 51

ءَاخِذِينَ مَآ ءَاتَىٰهُمۡ رَبُّهُمۡۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُحۡسِنِينَ

16. Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 51

كَانُواْ قَلِيلٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِ مَا يَهۡجَعُونَ

17. Bebakanga e kiseera kitono mu kiro. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 51

وَبِٱلۡأَسۡحَارِ هُمۡ يَسۡتَغۡفِرُونَ

18. Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 51

وَفِيٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ حَقّٞ لِّلسَّآئِلِ وَٱلۡمَحۡرُومِ

19. Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba). info
التفاسير:

external-link copy
20 : 51

وَفِي ٱلۡأَرۡضِ ءَايَٰتٞ لِّلۡمُوقِنِينَ

20. Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 51

وَفِيٓ أَنفُسِكُمۡۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ

21. Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 51

وَفِي ٱلسَّمَآءِ رِزۡقُكُمۡ وَمَا تُوعَدُونَ

22. Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 51

فَوَرَبِّ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ إِنَّهُۥ لَحَقّٞ مِّثۡلَ مَآ أَنَّكُمۡ تَنطِقُونَ

23. Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 51

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ضَيۡفِ إِبۡرَٰهِيمَ ٱلۡمُكۡرَمِينَ

24. Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 51

إِذۡ دَخَلُواْ عَلَيۡهِ فَقَالُواْ سَلَٰمٗاۖ قَالَ سَلَٰمٞ قَوۡمٞ مُّنكَرُونَ

25. Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 51

فَرَاغَ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ فَجَآءَ بِعِجۡلٖ سَمِينٖ

26. Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye). info
التفاسير:

external-link copy
27 : 51

فَقَرَّبَهُۥٓ إِلَيۡهِمۡ قَالَ أَلَا تَأۡكُلُونَ

27. Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye!. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 51

فَأَوۡجَسَ مِنۡهُمۡ خِيفَةٗۖ قَالُواْ لَا تَخَفۡۖ وَبَشَّرُوهُ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٖ

28. (Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 51

فَأَقۡبَلَتِ ٱمۡرَأَتُهُۥ فِي صَرَّةٖ فَصَكَّتۡ وَجۡهَهَا وَقَالَتۡ عَجُوزٌ عَقِيمٞ

29. (Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya!). info
التفاسير:

external-link copy
30 : 51

قَالُواْ كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡعَلِيمُ

30. (Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo. info
التفاسير: