ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
42 : 5

سَمَّٰعُونَ لِلۡكَذِبِ أَكَّٰلُونَ لِلسُّحۡتِۚ فَإِن جَآءُوكَ فَٱحۡكُم بَيۡنَهُمۡ أَوۡ أَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡۖ وَإِن تُعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ فَلَن يَضُرُّوكَ شَيۡـٔٗاۖ وَإِنۡ حَكَمۡتَ فَٱحۡكُم بَيۡنَهُم بِٱلۡقِسۡطِۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُقۡسِطِينَ

42. Bawuliriza ebigambo ebyobulimba, balya emmaali gyebafuna mu makubo aga haramu, singa bajja gyoli (Ggwe Muhammad) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bwobanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkyanya, anti bulijjo Katonda ayagala abakola obwenkanya. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 5

وَكَيۡفَ يُحَكِّمُونَكَ وَعِندَهُمُ ٱلتَّوۡرَىٰةُ فِيهَا حُكۡمُ ٱللَّهِ ثُمَّ يَتَوَلَّوۡنَ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَۚ وَمَآ أُوْلَٰٓئِكَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ

43. Naye lwaki basalawo ggwe obalamule, nga ate balina Taurat erimu okulamula kwa Katonda, ate oluvanyuma nebagikuba amabega, abo sibakkiriza (naakatono). info
التفاسير:

external-link copy
44 : 5

إِنَّآ أَنزَلۡنَا ٱلتَّوۡرَىٰةَ فِيهَا هُدٗى وَنُورٞۚ يَحۡكُمُ بِهَا ٱلنَّبِيُّونَ ٱلَّذِينَ أَسۡلَمُواْ لِلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلرَّبَّٰنِيُّونَ وَٱلۡأَحۡبَارُ بِمَا ٱسۡتُحۡفِظُواْ مِن كِتَٰبِ ٱللَّهِ وَكَانُواْ عَلَيۡهِ شُهَدَآءَۚ فَلَا تَخۡشَوُاْ ٱلنَّاسَ وَٱخۡشَوۡنِ وَلَا تَشۡتَرُواْ بِـَٔايَٰتِي ثَمَنٗا قَلِيلٗاۚ وَمَن لَّمۡ يَحۡكُم بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ

44. Mazima ffe twassa Taurat nga erimu obulungamu nekitangaala, bannabbi ba bayudaaya era bulijjo abamanyiddwa nti beewaayo eri Katonda, nga gyebakozesa okulamula abayudaaya, nga ne banna ddiini n'abakugu mu ddiini nga gyebalamuza olwobwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Katonda babe nga bakuuma Taurat, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu mutye nze, ebigambo byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, oyo yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 5

وَكَتَبۡنَا عَلَيۡهِمۡ فِيهَآ أَنَّ ٱلنَّفۡسَ بِٱلنَّفۡسِ وَٱلۡعَيۡنَ بِٱلۡعَيۡنِ وَٱلۡأَنفَ بِٱلۡأَنفِ وَٱلۡأُذُنَ بِٱلۡأُذُنِ وَٱلسِّنَّ بِٱلسِّنِّ وَٱلۡجُرُوحَ قِصَاصٞۚ فَمَن تَصَدَّقَ بِهِۦ فَهُوَ كَفَّارَةٞ لَّهُۥۚ وَمَن لَّمۡ يَحۡكُم بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ

45. Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi. info
التفاسير: