ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
40 : 44

إِنَّ يَوۡمَ ٱلۡفَصۡلِ مِيقَٰتُهُمۡ أَجۡمَعِينَ

40. Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 44

يَوۡمَ لَا يُغۡنِي مَوۡلًى عَن مَّوۡلٗى شَيۡـٔٗا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ

41. Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 44

إِلَّا مَن رَّحِمَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

42. Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 44

إِنَّ شَجَرَتَ ٱلزَّقُّومِ

43. Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 44

طَعَامُ ٱلۡأَثِيمِ

44. Ye mmere ya bonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 44

كَٱلۡمُهۡلِ يَغۡلِي فِي ٱلۡبُطُونِ

45. (Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya). info
التفاسير:

external-link copy
46 : 44

كَغَلۡيِ ٱلۡحَمِيمِ

46. Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 44

خُذُوهُ فَٱعۡتِلُوهُ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلۡجَحِيمِ

47. (Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 44

ثُمَّ صُبُّواْ فَوۡقَ رَأۡسِهِۦ مِنۡ عَذَابِ ٱلۡحَمِيمِ

48. Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako). info
التفاسير:

external-link copy
49 : 44

ذُقۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡكَرِيمُ

49. (Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira). info
التفاسير:

external-link copy
50 : 44

إِنَّ هَٰذَا مَا كُنتُم بِهِۦ تَمۡتَرُونَ

50. Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 44

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي مَقَامٍ أَمِينٖ

51. Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 44

فِي جَنَّٰتٖ وَعُيُونٖ

52. Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 44

يَلۡبَسُونَ مِن سُندُسٖ وَإِسۡتَبۡرَقٖ مُّتَقَٰبِلِينَ

53. Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 44

كَذَٰلِكَ وَزَوَّجۡنَٰهُم بِحُورٍ عِينٖ

54. Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 44

يَدۡعُونَ فِيهَا بِكُلِّ فَٰكِهَةٍ ءَامِنِينَ

55. Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 44

لَا يَذُوقُونَ فِيهَا ٱلۡمَوۡتَ إِلَّا ٱلۡمَوۡتَةَ ٱلۡأُولَىٰۖ وَوَقَىٰهُمۡ عَذَابَ ٱلۡجَحِيمِ

56. Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 44

فَضۡلٗا مِّن رَّبِّكَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

57. (Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 44

فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

58. Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo). info
التفاسير:

external-link copy
59 : 44

فَٱرۡتَقِبۡ إِنَّهُم مُّرۡتَقِبُونَ

59. Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde. info
التفاسير: