ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

external-link copy
135 : 4

۞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُونُواْ قَوَّٰمِينَ بِٱلۡقِسۡطِ شُهَدَآءَ لِلَّهِ وَلَوۡ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ أَوِ ٱلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَۚ إِن يَكُنۡ غَنِيًّا أَوۡ فَقِيرٗا فَٱللَّهُ أَوۡلَىٰ بِهِمَاۖ فَلَا تَتَّبِعُواْ ٱلۡهَوَىٰٓ أَن تَعۡدِلُواْۚ وَإِن تَلۡوُۥٓاْ أَوۡ تُعۡرِضُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا

135. Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebweba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala byemukola. info
التفاسير: