ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

external-link copy
127 : 4

وَيَسۡتَفۡتُونَكَ فِي ٱلنِّسَآءِۖ قُلِ ٱللَّهُ يُفۡتِيكُمۡ فِيهِنَّ وَمَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ فِي يَتَٰمَى ٱلنِّسَآءِ ٱلَّٰتِي لَا تُؤۡتُونَهُنَّ مَا كُتِبَ لَهُنَّ وَتَرۡغَبُونَ أَن تَنكِحُوهُنَّ وَٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلۡوِلۡدَٰنِ وَأَن تَقُومُواْ لِلۡيَتَٰمَىٰ بِٱلۡقِسۡطِۚ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِهِۦ عَلِيمٗا

127. Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bwajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga zaaba mulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okuweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bwajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyidde ddala. info
التفاسير: