ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
64 : 29

وَمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا لَهۡوٞ وَلَعِبٞۚ وَإِنَّ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَ لَهِيَ ٱلۡحَيَوَانُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

64 . Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 29

فَإِذَا رَكِبُواْ فِي ٱلۡفُلۡكِ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ فَلَمَّا نَجَّىٰهُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ إِذَا هُمۡ يُشۡرِكُونَ

65 . Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 29

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ وَلِيَتَمَتَّعُواْۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

66 . Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 29

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا حَرَمًا ءَامِنٗا وَيُتَخَطَّفُ ٱلنَّاسُ مِنۡ حَوۡلِهِمۡۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَكۡفُرُونَ

67 . Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda!. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 29

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُۥٓۚ أَلَيۡسَ فِي جَهَنَّمَ مَثۡوٗى لِّلۡكَٰفِرِينَ

68 . Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri!. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 29

وَٱلَّذِينَ جَٰهَدُواْ فِينَا لَنَهۡدِيَنَّهُمۡ سُبُلَنَاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَمَعَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ

69 . N'abo abalafuubana mu kutuweereza, ddala tujja kubalungamya ku makubo gaffe, era mazima Katonda ali wamu n'abalongoosa. info
التفاسير: