ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
45 : 27

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰ ثَمُودَ أَخَاهُمۡ صَٰلِحًا أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ فَإِذَا هُمۡ فَرِيقَانِ يَخۡتَصِمُونَ

45 . Era mazima twatuma eri abantu b'ekika kya Thamud muganda waabwe Swaleh nti musinze Katonda ali omu, ekyaddirira abantu abo kwe kubaamu ebibinja bibiri ebikaayagana, (ekya bakkiriza n'abatakkiriza). info
التفاسير:

external-link copy
46 : 27

قَالَ يَٰقَوۡمِ لِمَ تَسۡتَعۡجِلُونَ بِٱلسَّيِّئَةِ قَبۡلَ ٱلۡحَسَنَةِۖ لَوۡلَا تَسۡتَغۡفِرُونَ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ

46 . (Swaleh) naagamba nti abange mmwe abantu bange, lwaki musaba Katonda ekibi ng'ate temunnasaba kirungi, kale nno singa musaba Katonda okubasonyiwa mube nga musaasirwa. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 27

قَالُواْ ٱطَّيَّرۡنَا بِكَ وَبِمَن مَّعَكَۚ قَالَ طَٰٓئِرُكُمۡ عِندَ ٱللَّهِۖ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ تُفۡتَنُونَ

47 . Nebagamba nti tujja kufuna ebizibu ku lulwo ne ku lw'abo abali naawe. (Swaleh) naagamba nti omugabo gwa mmwe mu birungi oba mu bizibu biri eri Katonda, wabula mmwe muli abantu abalabankanyizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 27

وَكَانَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ تِسۡعَةُ رَهۡطٖ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ

48 . Mu kibuga kya bwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 27

قَالُواْ تَقَاسَمُواْ بِٱللَّهِ لَنُبَيِّتَنَّهُۥ وَأَهۡلَهُۥ ثُمَّ لَنَقُولَنَّ لِوَلِيِّهِۦ مَا شَهِدۡنَا مَهۡلِكَ أَهۡلِهِۦ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ

49 . Nebagamba (bannaabwe) mulayire Katonda nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantube. (bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 27

وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا وَمَكَرۡنَا مَكۡرٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

50 . Ne bakola e nkwe ez'okutta (Swaleh n'abantube) naffe ne tuzaanukula e nkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 27

فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ مَكۡرِهِمۡ أَنَّا دَمَّرۡنَٰهُمۡ وَقَوۡمَهُمۡ أَجۡمَعِينَ

51 . Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 27

فَتِلۡكَ بُيُوتُهُمۡ خَاوِيَةَۢ بِمَا ظَلَمُوٓاْۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ

52 . Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abantu abamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 27

وَأَنجَيۡنَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَكَانُواْ يَتَّقُونَ

53 . Twawonya abo abakkiriza ate nga baali batya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 27

وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ أَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ

54 . Era (jjukira omubaka waffe) Luutu bwe yagamba abantube nti: mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala!. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 27

أَئِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلرِّجَالَ شَهۡوَةٗ مِّن دُونِ ٱلنِّسَآءِۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ تَجۡهَلُونَ

55 . Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi, wabula mmwe muli abantu abakola ebikolwa eby'obubuyabuya. info
التفاسير: