ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
33 : 25

وَلَا يَأۡتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَأَحۡسَنَ تَفۡسِيرًا

33 . Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 25

ٱلَّذِينَ يُحۡشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُوْلَٰٓئِكَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضَلُّ سَبِيلٗا

34 . Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 25

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلۡنَا مَعَهُۥٓ أَخَاهُ هَٰرُونَ وَزِيرٗا

35 . Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 25

فَقُلۡنَا ٱذۡهَبَآ إِلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَدَمَّرۡنَٰهُمۡ تَدۡمِيرٗا

36 . Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 25

وَقَوۡمَ نُوحٖ لَّمَّا كَذَّبُواْ ٱلرُّسُلَ أَغۡرَقۡنَٰهُمۡ وَجَعَلۡنَٰهُمۡ لِلنَّاسِ ءَايَةٗۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِلظَّٰلِمِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا

37 . N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 25

وَعَادٗا وَثَمُودَاْ وَأَصۡحَٰبَ ٱلرَّسِّ وَقُرُونَۢا بَيۡنَ ذَٰلِكَ كَثِيرٗا

38 . Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 25

وَكُلّٗا ضَرَبۡنَا لَهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَۖ وَكُلّٗا تَبَّرۡنَا تَتۡبِيرٗا

39 . Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe). info
التفاسير:

external-link copy
40 : 25

وَلَقَدۡ أَتَوۡاْ عَلَى ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِيٓ أُمۡطِرَتۡ مَطَرَ ٱلسَّوۡءِۚ أَفَلَمۡ يَكُونُواْ يَرَوۡنَهَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَرۡجُونَ نُشُورٗا

40 . (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 25

وَإِذَا رَأَوۡكَ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي بَعَثَ ٱللَّهُ رَسُولًا

41 . Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 25

إِن كَادَ لَيُضِلُّنَا عَنۡ ءَالِهَتِنَا لَوۡلَآ أَن صَبَرۡنَا عَلَيۡهَاۚ وَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ حِينَ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ مَنۡ أَضَلُّ سَبِيلًا

42 . Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu). info
التفاسير:

external-link copy
43 : 25

أَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ أَفَأَنتَ تَكُونُ عَلَيۡهِ وَكِيلًا

43 . Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize. info
التفاسير: