ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
246 : 2

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ مِنۢ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ مِنۢ بَعۡدِ مُوسَىٰٓ إِذۡ قَالُواْ لِنَبِيّٖ لَّهُمُ ٱبۡعَثۡ لَنَا مَلِكٗا نُّقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ قَالَ هَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِتَالُ أَلَّا تُقَٰتِلُواْۖ قَالُواْ وَمَا لَنَآ أَلَّا نُقَٰتِلَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَقَدۡ أُخۡرِجۡنَا مِن دِيَٰرِنَا وَأَبۡنَآئِنَاۖ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ تَوَلَّوۡاْ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنۡهُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّٰلِمِينَ

246. Tolaba abakungu mu baana ba Israel abaaliwo oluvanyuma lwa Musa bwe baatuuka okugamba nabbi waabwe nti tuteerewo kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu kkubo lya Katonda. (Nabbi) naabagamba nti ‘kyemugamba nti singa mulalikiddwako okulwana nga muli ne kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Nebagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu kkubo lya Katonda nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva munsi yaffe? Wabula bwebaalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okugyako batono mubo. Wabula nga bulijjo Katonda amanyi abalyazaamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
247 : 2

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ بَعَثَ لَكُمۡ طَالُوتَ مَلِكٗاۚ قَالُوٓاْ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ عَلَيۡنَا وَنَحۡنُ أَحَقُّ بِٱلۡمُلۡكِ مِنۡهُ وَلَمۡ يُؤۡتَ سَعَةٗ مِّنَ ٱلۡمَالِۚ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰهُ عَلَيۡكُمۡ وَزَادَهُۥ بَسۡطَةٗ فِي ٱلۡعِلۡمِ وَٱلۡجِسۡمِۖ وَٱللَّهُ يُؤۡتِي مُلۡكَهُۥ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ

247. Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
248 : 2

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ءَايَةَ مُلۡكِهِۦٓ أَن يَأۡتِيَكُمُ ٱلتَّابُوتُ فِيهِ سَكِينَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَبَقِيَّةٞ مِّمَّا تَرَكَ ءَالُ مُوسَىٰ وَءَالُ هَٰرُونَ تَحۡمِلُهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ

248. Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza. info
التفاسير: