ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
62 : 10

أَلَآ إِنَّ أَوۡلِيَآءَ ٱللَّهِ لَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ

62. Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 10

ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَكَانُواْ يَتَّقُونَ

63. (Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 10

لَهُمُ ٱلۡبُشۡرَىٰ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ لَا تَبۡدِيلَ لِكَلِمَٰتِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

64. Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 10

وَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّ ٱلۡعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعًاۚ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

65. Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 10

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَمَا يَتَّبِعُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ شُرَكَآءَۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ

66. Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 10

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ

67. Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 10

قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۖ هُوَ ٱلۡغَنِيُّۖ لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنۡ عِندَكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭ بِهَٰذَآۚ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

68. Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 10

قُلۡ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ لَا يُفۡلِحُونَ

69. Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 10

مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ

70. Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga. info
التفاسير: