Terjemahan makna Alquran Alkarim - Terjemahan Berbahasa Oluganda - Yayasan Afrika untuk Pengembangan

Nomor Halaman:close

external-link copy
106 : 4

وَٱسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا

106. Era weegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi nnyo waakisa. info
التفاسير:

external-link copy
107 : 4

وَلَا تُجَٰدِلۡ عَنِ ٱلَّذِينَ يَخۡتَانُونَ أَنفُسَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ خَوَّانًا أَثِيمٗا

107. Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omwonoonefu. info
التفاسير:

external-link copy
108 : 4

يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱلنَّاسِ وَلَا يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱللَّهِ وَهُوَ مَعَهُمۡ إِذۡ يُبَيِّتُونَ مَا لَا يَرۡضَىٰ مِنَ ٱلۡقَوۡلِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطًا

108. Beekweka abantu nebatasonyiwalira Katonda, so nga bulijjo aba nabo bwebasula nga abayiiya ebigambo byatayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola. info
التفاسير:

external-link copy
109 : 4

هَٰٓأَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ جَٰدَلۡتُمۡ عَنۡهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا فَمَن يُجَٰدِلُ ٱللَّهَ عَنۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَم مَّن يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا

109. Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lwokuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe! info
التفاسير:

external-link copy
110 : 4

وَمَن يَعۡمَلۡ سُوٓءًا أَوۡ يَظۡلِمۡ نَفۡسَهُۥ ثُمَّ يَسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَ يَجِدِ ٱللَّهَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا

110. Omuntu akola ekibi oba neyeeyisa obubi naye neyeegayirira Katonda, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo omusaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
111 : 4

وَمَن يَكۡسِبۡ إِثۡمٗا فَإِنَّمَا يَكۡسِبُهُۥ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا

111. Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
112 : 4

وَمَن يَكۡسِبۡ خَطِيٓـَٔةً أَوۡ إِثۡمٗا ثُمَّ يَرۡمِ بِهِۦ بَرِيٓـٔٗا فَقَدِ ٱحۡتَمَلَ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا

112. Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate naakissa ku muntu atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa ekyobulimba era nga kibi ekyolwatu. info
التفاسير:

external-link copy
113 : 4

وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ وَرَحۡمَتُهُۥ لَهَمَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ أَن يُضِلُّوكَ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡۖ وَمَا يَضُرُّونَكَ مِن شَيۡءٖۚ وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا

113. Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo. info
التفاسير: