Terjemahan makna Alquran Alkarim - Terjemahan Berbahasa Oluganda - Yayasan Afrika untuk Pengembangan

Al NAHL

external-link copy
1 : 16

أَتَىٰٓ أَمۡرُ ٱللَّهِ فَلَا تَسۡتَعۡجِلُوهُۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

1. Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 16

يُنَزِّلُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ بِٱلرُّوحِ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرُوٓاْ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱتَّقُونِ

2. Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 16

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ تَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

3. Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 16

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ

4. Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 16

وَٱلۡأَنۡعَٰمَ خَلَقَهَاۖ لَكُمۡ فِيهَا دِفۡءٞ وَمَنَٰفِعُ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

5. N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 16

وَلَكُمۡ فِيهَا جَمَالٌ حِينَ تُرِيحُونَ وَحِينَ تَسۡرَحُونَ

6. Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale). info
التفاسير: