क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन

पृष्ठ संख्या:close

external-link copy
28 : 54

وَنَبِّئۡهُمۡ أَنَّ ٱلۡمَآءَ قِسۡمَةُۢ بَيۡنَهُمۡۖ كُلُّ شِرۡبٖ مُّحۡتَضَرٞ

28. Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu). info
التفاسير:

external-link copy
29 : 54

فَنَادَوۡاْ صَاحِبَهُمۡ فَتَعَاطَىٰ فَعَقَرَ

29. Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya). info
التفاسير:

external-link copy
30 : 54

فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ

30. Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 54

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَكَانُواْ كَهَشِيمِ ٱلۡمُحۡتَظِرِ

31. (Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye). info
التفاسير:

external-link copy
32 : 54

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ

32. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 54

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطِۭ بِٱلنُّذُرِ

33. Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 54

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ حَاصِبًا إِلَّآ ءَالَ لُوطٖۖ نَّجَّيۡنَٰهُم بِسَحَرٖ

34. Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 54

نِّعۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَن شَكَرَ

35. Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 54

وَلَقَدۡ أَنذَرَهُم بَطۡشَتَنَا فَتَمَارَوۡاْ بِٱلنُّذُرِ

36. Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe). info
التفاسير:

external-link copy
37 : 54

وَلَقَدۡ رَٰوَدُوهُ عَن ضَيۡفِهِۦ فَطَمَسۡنَآ أَعۡيُنَهُمۡ فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ

37. Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 54

وَلَقَدۡ صَبَّحَهُم بُكۡرَةً عَذَابٞ مُّسۡتَقِرّٞ

38. Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 54

فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ

39. Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 54

وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ

40. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 54

وَلَقَدۡ جَآءَ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ ٱلنُّذُرُ

41. Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 54

كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا كُلِّهَا فَأَخَذۡنَٰهُمۡ أَخۡذَ عَزِيزٖ مُّقۡتَدِرٍ

42. Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 54

أَكُفَّارُكُمۡ خَيۡرٞ مِّنۡ أُوْلَٰٓئِكُمۡ أَمۡ لَكُم بَرَآءَةٞ فِي ٱلزُّبُرِ

43. Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 54

أَمۡ يَقُولُونَ نَحۡنُ جَمِيعٞ مُّنتَصِرٞ

44. Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 54

سَيُهۡزَمُ ٱلۡجَمۡعُ وَيُوَلُّونَ ٱلدُّبُرَ

45. (Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke). info
التفاسير:

external-link copy
46 : 54

بَلِ ٱلسَّاعَةُ مَوۡعِدُهُمۡ وَٱلسَّاعَةُ أَدۡهَىٰ وَأَمَرُّ

46. (Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 54

إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي ضَلَٰلٖ وَسُعُرٖ

47. Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 54

يَوۡمَ يُسۡحَبُونَ فِي ٱلنَّارِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ ذُوقُواْ مَسَّ سَقَرَ

48. (Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 54

إِنَّا كُلَّ شَيۡءٍ خَلَقۡنَٰهُ بِقَدَرٖ

49. Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba. info
التفاسير: